Bya Kizito Musoke Ne Meddie Musisi
OBUKULEMBEZE bw’Obusiraamu e Kibuli busomedde Sheikh Nuhu Muzaata dduuwa ey’okujjukira emyaka ebiri bukya afa ku mukolo ogusombodde ebikumi n’ebikumi by’abantu ku kasozi Kibuli.
Wabula dduwa yabadde tennasobwa ku Ssande, ab’enju ye nga bali wamu n’abataka mu kika ky’e Njovu baasoose mu maka ga bazadde ba Muzaata e Bwaise ne bamussizzaako omusika, Amjad Ssozi Muzaata.
Muzaata eyafa nga December 4, 2020 wabula nga December 5, 2021 bwe yaweza omwaka ng’afudde, nnamwandu omuto Dr. Kluthum Nabunya Muzaata yategeka olumbe mu maka ge agasangibwa ku Keeti Falaawo e Kawempe n’alaga mutabani we, Anwar Ssessanga ng’omusika.
Muzaata New
Nabunya yategeeza abakungubazi nti Muzaata yamulaamira nti bw’abanga afudde bateekangako Ssessanga ng’omusika.
Kyokka ebigambo bya Nabunya byawakanyizibwa ffamire ya Muzaata enkeera mu Duwa gye baategeka e Kigoogwa ku lw’e Bombo bwe baategeeza nti okusinziira ku kiraamo ky’omugenzi, Amjad Ssozi ye musika kyokka nga mu kiseera ekyo yali mu Amerika.
Ku Lwomukaaga, ffamire yataddeko omusika Amjad Ssozi era Faruk Muzaata eyayogedde ku lwa ffamire n’ategeeza nti tewali musika mulala gwe bamanyi.
Omutaka David Sessanga Mukalo, akulira ekika ky’Enjovu yabaddewo ku lw’ekika era n’akakasa nti emikolo gyonna gitambudde nga gigoberera ennono n’obulombolombo.
Omusika Amjad Ssozi Muzaata baamwanjudde mu dduwa e Kibuli, ku mukolo ogwetabyeko abantu abangi okuva mu Bwakabaka bwa Buganda ne Gavumenti ya wakati.
Jjajja w’Obusiraamu, Dr. Kassim Nakibinge yasabye abakwasisa amateeka bakomye enkola y’okukwata Abasiraamu buli lwe wabeerawo obuzibu.
“Nsaba nga mpita mu minisita wa Kampala buli lwe wabeerawo obuzibu emirundi mingi mutera kukiwunzikira ku Basiraamu. Obuzibu mukwata abaana b’abantu ne bakubibwa bigenda okuwunzika nga tewali bujulizi bubaluma,” Nakibinge bwe yagambye.
Omugenzi Sheikh Nuhu Muzaata
Yagambye nti enkola y’okukwatira abantu mu mmotoka za drone ekomezebwe kuba eteeka abantu ku bunkenke era nga tewa kifaananyi kirungi eri Gavumenti. Enkola z’ekika kino yasabye zijjukirwe ku gavumenti ezaayita kuba eriwo abantu abaali bagyenyumirizaamu lwa kuleeta mirembe.
Supreme Mufti Sheikh Shaban Galabuzi naye yavumiridde ebikolwa by’okukwata abantu ng’abakuumaddembe tebambadde yunifoomu kyokka ng’eno babagalidde emmundu.
Yasabye abantu bakwatibwe n’obuvunaanyizibwa etali kusasamaza, ffamire z’abakwate zitegeezebwe era batwalibwe mu mbuga z’amateeka kuba ezikwatibwa si nseenene.
Sheikh Lukuman Wakinyankaali, yagambye nti kikwasa ennaku nti mu kiseera kino ng’Abasiraamu babuzibwaawo, abamu ku bakulembeze mu ddiini eno ssaako n’abo abali mu gavumenti tebavuddeeyo wabula bali mu kulya nga beerabidde nti Katonga ajjula.
Dr. Twaha Kaawaase omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda yayogedde ku Muzaata ng’eyali mukwano gwa bangi era ng’ayogera ekimuli ku mutima.
Ye minisita wa Kampala, Hajat Miisa Kabanda eyakiikiridde omumyuka wa ssentebe wa NRM, Alhaji Moses Kigongo yagambye nti Muzaata yali mukwano gwe ng’omuntu n’asaba Abasiraamu okumalabirako.