Emikolo gya Kulthum gy'engedde

EMBAGA ya Kluthumu Nabunnya eyali muka Muzaata, eyengedde.Bba wa Kluthum Nabunnya akomyewo n’entwala y’ebintu by’emikolo by’aguze e South Africa ekyongedde ebbugumu mu mukolo gwabwe ogw’okwanjula. Okwanjula kwa kubaawo November 25 e Kyanja mu disitulikiti y’e Wakiso. Acram Gumisiriza yavudde e South Africa gy’abeera n’agamba nti kati buli kimu kiri mu ggiya, balinde mukolo kwe bajja okukakasiza kiki ky’ali.

Kluthum ng’ayaniriza Acram ku kisaawe e Ntebe. Wansi, Sseguya owa Bukedde ng’ali ne Acram mu dduuka erimu mwe yabadde agula eby’okwambala by’omukolo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EMBAGA ya Kluthumu Nabunnya eyali muka Muzaata, eyengedde.
Bba wa Kluthum Nabunnya akomyewo n’entwala y’ebintu by’emikolo by’aguze e South Africa ekyongedde ebbugumu mu mukolo gwabwe ogw’okwanjula. Okwanjula kwa kubaawo November 25 e Kyanja mu disitulikiti y’e Wakiso. Acram Gumisiriza yavudde e South Africa gy’abeera n’agamba nti kati buli kimu kiri mu ggiya, balinde mukolo kwe bajja okukakasiza kiki ky’ali.
Acram eyatuuse ku kisaawe e Ntebe ku Ssande ekiro, yazze n’amakeesi ag’emigugu omuli ‘matiiriyo’ z’emishanana ezimu ezigenda okutungibwamu emishanana egigenda okwambalwa bonna abagenda okubeera ku kwajula era nga Acram agamba nti engeri gy’ali Munyankole, baasazeewo bonna bambale byabuwangwa bye.
Ebirala bye yazze nabyo mulimu empeta ze yayogeddeko nti zaakukozesebwa ku mbaga egenda okubaawo mu December w’omwaka guno ng’okwanjula kwakaggwa ebbanga ttono.
Empeta okusinziira ku Acram, yaziguze 27000 eza rand nga mu za Uganda, obukadde mukaaga.
Amasuuti g’embaga yagaguze mu dduuka gaggadde erya Menlyn mu kibuga Pretoria mu ssaza ly’e Gauteng.
Engatto agamba nti yaziguze mu Mall of Africa era ng’abawerekera omugole omukyala, baakwambala zifaanana wadde ng’ez’omugole zisinga ku bbeeyi.
Leero, Acram ne Dr. Kluthum Nabunnya bagenda kusisinkana abantu bonna abagenda okukola ku mikolo gyombi okukola enteekateeka ezisembayo.
Bagenda kuyisaamu bwe birina okutambula nga Acram agamba nti tayagala nsobi yonna ku mukolo olw’abantu abaayogera ebingi nga baakamulaba ne Kluthum mu mukwano. 

gyengedde

AKEETALO KU KISAAWE 

Kaabadde keetalo ku kisaawe nga Kluthum alinze bba eyatuuse n’amuwa akafuba n’okumukwasa ekimuli. Ab’enganda za Kluthum nabo baabuuzizza Acram nga bakulembeddwa ssenga ow’ensonga, Hajat Aisha Lubega Nabunnya.
Baatudde mu mmotoka embikkule ne bagenda mu kifo ekitaategeerekese nga bagamba nti mulimu ebyokwerinda kwabwe.