NANNYINI skypins tours and travels Christian Asiimwe 32, amanyidwa nga Don Chris buli lukya ebintu byongera okumwonoonekera bwe bamusomedde emisango emirala 156 nga kati giweze 724 egy'okuggya ssente ku bantu ng'abasuubizza okubatwala ku kyeyo wabula gyonna agyegaanyi.
Olwaleero nga November 18, 2026 Don Chris akomezeddwawo n’asimbibwa mu maaso g'omulamuzi Nicholas Aisu ku kkooti ya Cityhall n’asomerwa emisango gino

Don ng'awayaamu ne munnamateeka we
Mu lutuula lwa kkooti olwasembayo, Don Chris ng’ayita mu munnamateeka we yategeeza kkooti nti amannya ga bawawaabira omuntu waabwe agamu bagaddamu mu fayiro ez'enjawulo ekivuddeko emisango okubeera emingi ekiswazizza erinnya ly'omuntu we n’asaba kkooti emisango egyaddibwamu bagimuggyeko
Mu kusaba kwe era yategeeza kkooti nti abawaabi abamu tebamanyikiddwa n’asaba omusango lwe guddamu okuwulirwa bajje n'ebiboogerako bwe balemererwa emisango gyona gigobebwe.
Mu lutuula lwa kkooti, abavunaana Don Chris tebajjumbidde kujja wabula mu kusalawo kw'omulamuzi mu nsonga eno ategeezezza nti omuwaabi wa Gavumenti asobola okutereezaamu ensobi zonna ezaakolebwa mu misango gino naye tebayinza kugigoba.

Don nga bimusobedde mu kaguli ka kkooti.
Don Chris ng’ayita mu munnamateeka we ategeezezza nti waliwo omukyala gw’alumiriza mu kkooti nti tamubanja wabula yeeyambisa omutimbagano okukunga abantu abalala okujja okumulumiriza emisango gino newankubadde omulamuzi alagidde amuleke naye abeere mu kkooti.
Ezimu ku ffayiro empya ezireeteddwa ziraga nti wakati wa 2023 ne 2025 Don Chris n'abalala abakyanoonyezebwa baggya ssente 5, 200,000 okuva ku Eron Nabaggala ng’amusuubizza okumutwala okumufunira omulimu e Luxembourg.
Kigambibwa nti yaggya 7,200,000 okuva ku Samuel Ssewanyana ng’amusuubizza okumutwala e Luxembourg ky’ataatuukiriza, yaggya obukadde 5 okuva ku Afuza Kigiiza ng’amusuubiza okumufunira omulimu e Canada ky’ataatuukiriza n'abalala bangi.
Omulamuzi yategeezezza abavunaana Don Chris bonna okujja ku Lwokutaano okusisinkana omuwaabi wa Gavumenti Mercy Yamangusho Khaidara ali mu musango gwabwe okusobola okuteesa, n’alagira akomezebwewo mu kkooti nga December 7