OWA NRM eyawangulwa mu kalulu k’okunoonya anaakwatira ekibiina bendera ku kifo ky’omubaka wa Palamenti owa Lugazi munisipaali alaze abawagizi be ffayiro y’omusango gwe yataddeyo ng’awakanya ebyava mu kulonda.
Munnamateeka Richard Sentezza asinzidde mu lukung’aana lw’abawagizi be abaakungaanidde mu kisaawe kya Wagadogou e Lugazi n’ategeeza nga bw’atayinza kukkiriza kumubba kwe yagambye nti kwakolebwa abantu b’olubatu abaalina ekigendererwa by’ekibiina okulaba nga obuwagizi bwakyo bweyongera okukendeera mu Lugazi.
Sentezza Ng'ayogerako eri abawagizi be.
Abagambye nti yawangula kyokka ne balangiriramu omuntu omulala era ye nga eyasoma amateeka tatayinza kukikkiriza.
Yayongeddeko nti yasoose kukung’aanya bujulizi obulaga nti yawangula okulonda era bwe yatutte mu kkKooti eyassibwawo pulezidenti Museveni ssentebe w’ekibiina okutawulula enkaayana z’ebyava mu kulonda era nti wiiki eno omusango lwe guwulira.
Bakira ayogera ng’abawagizi be bwe bamukubira enduulu n’okumulaga nti bakyali mabega we ng’abalala bamusaba bwe bigaana akomewo yeesimbewo ku bwannamunigina kuba nabo basobola okumwesimbako bwe yabawangula mu kulonda kwa bonna okwaliwo mu 2021 ekyavaako okuwangulwa munna NUP Stephen Sserubula.
Okusinziira ku byavudde mu kulonda, Isaac Mulindwa Ssozi eyaliko omubaka w’ekitundu ekyo yawangudde n’obululu 832, Richard Sentezza n’afuna 7259 , Bill Tomusange yafunye 1100 ate Ssemakula Pheastus n’afuna 99.
Wamala Eriasa eyakulidde kkampeyini za Ssentezza yabuulidde abawagizibi baabwe nti ekisembayo bajja kukyogera ng’omusango gumaze okuwulirwa.
Baagambye nti bo kye baagala kwe kuweebwa obuwanguzi bwabwe obwababbibwako , okusazaamu ebyava mu kulonda ekisembayo kyakumanyibwa nga bamaze okusala omusango.