Bukedde TV ereese akazannyo akanaacamula abakulu n'abato

15th January 2025

BUKEDDE TV 1, etaggwa kuyiiyiza balabi baayo esabuukuludde akazannyo akapya akagenda okusanyusa, okuyigiriza n’okugatta abaana, abavubuka n’abakadde nga kazannyibwa abaana aba wano

Bukedde TV ereese akazannyo akanaacamula abakulu n'abato
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Kucamula #Bakulu #Bato #Kazannyo #bukedde tv

BUKEDDE TV 1, etaggwa kuyiiyiza balabi baayo esabuukuludde akazannyo akapya akagenda okusanyusa, okuyigiriza n’okugatta abaana, abavubuka n’abakadde nga kazannyibwa abaana aba wano.

Sseruwagi Wakati N'abakozi Ba Vision Group Abalala Mu Kutongoza Akazannyo.22

Sseruwagi Wakati N'abakozi Ba Vision Group Abalala Mu Kutongoza Akazannyo.22

Mu kutongoza akazannyo kano akaatuumiddwa ‘Village Shop’ ekivvuunula nti edduuka ly’omu kyalo okwabadde ku Tales Lounge e Bukoto, abaakawandiise okuli Raymond Kasaija ne Patience Nuwagaba Amooti baagambye nti baagenderedde okulaga abantu ebyo ebyabeeranga ku dduuka abantu lye bettanira ennyo mu kyalo nga bangi ku bantu ab’omulembe guno tebabimanyi.

Akazannyo kano kalimu bannayuganda abakugu mu kuzannya katemba omuli: Reign omusoyissoyi, aba Fun Factory, aba Merry Hearts Tumbeetu n’abalala bangi.

Raymond Rushabiro Ng'ayogera Ku Kazannyo Ka Village 1212

Raymond Rushabiro Ng'ayogera Ku Kazannyo Ka Village 1212

Ku lwa Bukedde TV, Ivan Sseruwagi asuubizza abalabi ba Bukedde nti kano ke kazannyo omuzadde n’omwana ke bagenda okutuula awamu banyumirwe ate nga bwe bayiga naddala ku bulamu obw’omu kyalo bangi abakulidde mu bibuga bwe batamanyi.

Yategeezezza nti akazannyo kano kagenda kubeeranga ku Bukedde TV1 okuva mu March ng’essaawa n’ennaku kwe kanaalagibwanga zijja kulangirirwa mu maaso awo.

 

Omu ku bazannyi abakulu Raymond Rushabiro yagambye nti akazannyo kano ka kuggyayo embeera y’ekyalo ey’abantu abajja ku dduuka, enneeyisa y’abalikolamu ate kalage n’abaliriraanye ng’omutunzi w’engatto n’oweekyalaani nga kajjudde ebisesa n’ebiyigiriza n’asaba abantu okukalaba kubanga tebajja kusigala kye kimu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.