Ku bano kuliko Rtd. Lt. Col. Canon Robert Ssekidde, Rev. Dr. Florence Muranga, Justice Ezekiel Muhanguzi, Hon. Justine Khainza, James ne Sarah Sserufusa.
Bano baaweereddwa ssatifikeeti ezibasiima, nga zaabakwasiddwa Fr. Dr. Mark Richard Ssajjabbi, ssentebe w'olukiiko olufuzi olwa Bible Society.
Fr. Dr. Mark Richard Ssajjabi (ku kkono) ng'akwasa Justice Ezekiel Muhanguzi ssatifikeeti ye
Omukolo gwabaddde ku ofiisi z'ekibiina kino, mu Kampala, Bombo Road, ku Lwokutaano nga November 5.
Fr. Dr. Mark Richard Ssajjabi (ku kkono) ng'akwasa Hon. Justine Khainza ssatifikeeti ye.
Ssaabawandiisi w'ekitongole kino, Simon Peter Mukhama yasabye abantu bonna ab'omwoyo omulungi, okulabira ku bano, nabo babeeko kye batona, omulimu gwa Katonda gusobole okugenda mu maaso.
Fr. Dr. Mark Richard Ssajjabi (ku kkono) ng'akwasa Rev. Dr. Florence Muranga ssatifikeeti ye.
Omukolo guno gwetabiddwako ne ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kaziimba Mugalu, Nankulu wa Kampala Capital City Authority, Dorothy Kisaka, ne Hon. Dr. Ruth Nankabirwa.
Rtd. Lt. Col. Canon Robert Ssekidde ng'ayolesa ssatifikeeti ye