Amawulire

Bazudde buwumbi bwa ssente okuva mu bubbi bw'eddagala n'ebikozesebwa mu malwalri

KITONGOLE ekirwanyisa n'okulondoola obubbi bw'eddagala mu ggwanga ekya State House health monitoring Unit kiriko ssente eziri mu buwumbi ze bazudde okuva mu bubbi bw'eddagala n'ebintu ebirala ebikozesebwa mu malwaliro.

Bazudde buwumbi bwa ssente okuva mu bubbi bw'eddagala n'ebikozesebwa mu malwalri
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

EKITONGOLE ekirwanyisa n'okulondoola obubbi bw'eddagala mu ggwanga ekya State House health monitoring Unit kiriko ssente eziri mu buwumbi ze bazudde okuva mu bubbi bw'eddagala n'ebintu ebirala ebikozesebwa mu malwaliro.


Mu mwaka gwa 2021 / 2022, ssente eziwera obuwumbi 2 ze zaazuulwa, mu 2022/ 2023 zaali akawumbi kamu n'obukadde 200, mu 2023 / 2024 bazuula ensimbi obukadde 800.


Bino, byogeddwa akulira ekitongole kino, Dr. Wallen Namala, mu lukung'aana lwa bannamawulire ku Media Centre enkya yaleero, mu kaweefube w'okulwanyisa ebikolwa by'okubba eddagala n'ebikozesebwa ebirala okuva mu malwaliro .


Namala, ategeezezza nti obunyazi buno, bulimu abantu abawerako okuli abasawo , abakozi mu sitoowa z'eddagala ne gye balitundira , abantu baabulijjo nga n'abamu balifulumiza mu kkeesi z'abafu.


Annyonnyodde nga bwe waliwo n'omuze gw'okuzza ku katale eddagala eribeera liyiseeko ennaku , nti ne baddamu okulipakira buto mu bintu mwe balitundira, ky'agambye nti kyabulabe.


Alabudde n'abantu babulijjo, okukomya enkola y'okugenda mu malwaliro , ne baggyayo eddagala ne balitereka , nga beetegekera okulwala , ky'agambye nti nakyo , kyabulabe. Asabye abantu okweyambisa ennamba 0800200447 okuloopa oyo yenna eyeenyigira mu bikolwa bino.

Tags:
Ddagala
Kuzuula
Bubbi
Kukozesa
Ssente