Amawulire

Besigye ne banne bakomezeddwawo mu kkooti ku by'okulya mu nsi olukwe

Dr Kiiza Besigye ,Hajji Obed Lutale ne Capt Denish Oola bwe bavunaanibwa okulya mu nsi okulwe bamaze okutuusibwa ku kkooti enkulu okuwulira okusaba kw’oludda oluwaabi mwe baagala abajulizi mukaaga baleme kwogera bibakwatako.

Besigye ne banne bakomezeddwawo mu kkooti ku by'okulya mu nsi olukwe
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision

Omulamuzi alagidde oludda oluwaabi okuwa Dr. Besigye, Hajji Obed ne Capt Denish Oola ebiwandiiko bakole okwanukula ,olwo bakomewo mu kkooti nga March 31, 2026

 

Dr Kiiza Besigye ,Hajji Obed Lutale ne Capt Denish Oola bwe bavunaanibwa okulya mu nsi okulwe bamaze okutuusibwa ku kkooti enkulu okuwulira okusaba kw’oludda oluwaabi mwe baagala abajulizi mukaaga baleme kwogera bibakwatako.

 

Ssaabawaabi wa gavumenti nga yeesigama ku kirayiro ky’omuwaabi wa Gavumenti Joseph Kyomuhendo ayagala abajulizi abo bakwekebwe olw’ebyokwerinda byabwe ng’agamba nti bakimanyi bulungi nti oludda oluwaabi lulina okuwa abawawaabirwa obujulizi bwonna bwe basuubira okwesigamako, wabula baagala abajulizi omukaaga ku be basuubira okwesigamako ebibakwatako bireme kwanjulwa.

 

Kyomuhendo agamba nti ebikwata ku bajulizi bano ne ffamire zaabwe ssinga biweebwa abawawaabirwa mu kaseera kano kiteeka ebyokwerinda kwabwe mu matigga noolwekyo basaba kkooti abawawaabirwa babifune nga wabula ennaku musanvu okuwulira obujulizi bwabwe.

 

Okusaba kuno okuteereddwa mu kkooti enkulu ,Kyomuhendo agamba nti abajulizi baabwe baatandika dda okutiisibwatiisibwa okuva mu banywanyi ba bawawaabirwa .

 

Kyomuhendo ayongeddeko nti ssinga ebikwata ku bajulizi bano tebiweebwayo mu kaseera kano tekirina bwe kijja kukosa Besigye ne banne mu kuwulira omusango guno.

 

Bw’atyo asabye kkooti ekkirize mu kuwulira omusango guno abajulizi abo baleme kuyitibwa mannya gaabwe amatuufu ssaako okwogera ebibakwatako byonna batuumibwe ag’ekimpaatira babuulire kkooti byebamanyi.

 

Omulamuzi Emmanuel Baguma owa kkooti enkulu mu Kampala y’ali mu musango guno.

 

Tags:
Nsi
Lukwe
Obed