Amawulire

Abaasomerako ku Gayaza High School bakyaddeko e Mbuga

OMUMYUKA Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa atenderezza omulimu ogukolebwa ekibiina ekitaba abaasomerako ku Gayaza High School olw'okwetaba mu buli nteekateeka egenderera okutumbula enkulakulana yaalyo.

Akulira eggwanika lya Buganda Waggwa Nsibirwa, omulangiea Wasajja ssaako n'abasomerako ku Gayaza High School
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

OMUMYUKA Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa atenderezza omulimu ogukolebwa ekibiina ekitaba abaasomerako ku Gayaza High School olw'okwetaba mu buli nteekateeka egenderera okutumbula enkulakulana yaalyo.

Waggwa Nsibirwa agamba nti ekibiina kino Kiwa eky'okulabirako ekirungi eri ebibiina ebirala ebitaba abaasomerako mu masomero agatali gamu mu ggwanga olw'engeri gyekikolamu Pulojekiti ezitali zimu.

Okubeebaza bwati abadde asisinkanye obukulembeze bw'abaasomerako mu ssomero lino ekya Gayaza Old Girls Association abazze e Bulange-Mmengo okutegeeza Obwakabaka mu butongole enteekateeka gyebaliko ey'okuzimba ekifo ekigazi, abayizi mwebanasabiranga kubanga ekiriwo kituuza abaana 400 byokka ng'ate Kati lirina abaana abasoba mu 2000.

Pulezidenti w'Ekibiina ky'abasomerako ku Gayaza High School, Christine Mulimba Kasule ategeezzeezza nga bwebali ku kaweefube w'okulaba nga banoonya ensimbi Obuwumbi 7 okumaliriza ekifo kino mu bbanga lya myaka esatu. 

Mulimba Kasule agambye nti okusobola okufuna ssente zino bategese omukolo nga March 21,2026 e Gayaza ku ssomero lino okusonderako ssente ng'era Ssabalabirizi w'ekanisa ya Uganda yalikulemberamu okusaba ku mukolo ogwo. 

Buli muntu aneetaba ku mukolo guno wakusasula 350,000/- ate ababiri ba 700,000/- era Waggwa Nsibirwa yeyamye ku lw'Obwakabaka nti bagenda kubakwatizaako okulaba ng'omulirimu ogwo gumalirizibwa nga bwebateeseteese. 

Mulimba Kasule abadde n'Omumyuka Kentaro Mugerwa, Bammemba okuli Sylvia Nalumansi Kasozi, Brenda Ssekabembe n'abalala.

Tags: