GAVUMENTI ya Uganda ng’eyita mu ssente ezaagiwolebwa World Bank ewadde disitulikiti ya Wakiso obuwumbi 150 okukola ku nguudo ssatu ezisuubirwa okukendeeza akalippagano k’ebidduka ku nguudo eziyingira Kampala.
Enguudo zino zigenda kukolebwa wansi wa pulojekiti ya Greater Kampala and Metropolitan Affairs nga zigenda kuba zirabirirwa minisitule ya Kampala ng’eri wamu ne disitulikiti ya Wakiso.
Enguudo ezigenda okukolebwa kuliko Seguku-Nalumunye-Bandwe-Kinaawa-Kyengera oluwezaako kkiromita 8.9, Namulanda-Bweya-Kajjansi oluwezaako kkiromita 7.5 ne Kayunga-Ssenge-Kawanda oluwezaako kkiromita 6.5.
Ku Lwokubiri, abakungu ba minisitule ya Kampala n’emiriraano nga bali wamu n’abakulu ku disitulikiti ye Wakiso baakwasizza kkampuni z’abachina enguudo zino ezigenda okukolebwa mu mwaka gumu n’ekitundu.
Oluguudo lwa Seguku-Nalumunye-Bandwe-Kinaawa-Kyengera lugenda kukolebwa kkampuni ya China Civil Engineering Construction Corporation, olwa Namulanda-Bweya-Kajjansi lugenda kukolebwa aba China Wu Yi Construction Co. Ltd ate olwa Kayunga-Ssenge-Kawanda lugenda kukolebwa aba Bouch Ug Ltd and Nyoro Construction Company Limited.
Kaamiisona mu minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu Charles Magumba nga ye yakiikiridde minisita Raphael Magyezi, yategeezezza nti Gavumenti yagezaako okukola enguudo mu Kampala kyokka ng’ate disitulikiti eziriraanye Kampala ziri bubi nnyo.
“Gavumenti yatunulamu n’egamba nti wadde enguudo za Kampala zikoleddwa, naye n’eza Wakiso, Mukono ne Mpigi zaatunulirwa nga zaakutaasa abantu okwewala jjaamu w’e Kampala ssinga bava ku nguudo zimwasanjala ezimu okudda kundela.” Magumba bwe yayongeddeko.
Magumba yayongeddeko nti ebibuga nga Wakiso bikuze nga mu kino balina okukola enguudo ez’enjawulo kiyambe n’eku basuubuzi abatambuza emmaali yaabwe mu bitundu eby’enjawulo obutatawaanyizibwa.
Omuteesiteesi owa wansi mu minisitule ya Kampala n’emiriraano, Edemachu Monica Ejua yalabudde bakontulakita abakozesa ebimotoka ebikadde ekivuddeko emirimu okusoba ssaako n’obubenje obw’enjawulo.
Yategeezezza nga bwamaze okukwatagana n’abakulu mu poliisi y’ebyenguudo okukebera mmotoka zonna ezigenda okukozesebwa mukukola enguudo era ng’ezo ezinaaba zisangiddwa, bakontulakita bakuvunanibwa.
Akulira abakozi ku disitulikiti e Wakiso, Jude Bukenya yasabye bakontulakita okukolera mu budde obubaweereddwa kisobozese abantu abakozesa enguudo zino obutakosebwa kiseera kinene.
Yasabye bakontulakita okuwa abatuuze ku nguudo zino emirimu kyokka n’alabula abanaaba baweereddwa emirimu okwewala ebikolwa by’obubbi kuba anaakwatibwa ajja kuvunaanibwa mu mateeka.
Enguudo ezigenda okukolebwa kugenda kutekebwako amataala agaaka ekiro, ebitaala ebirabula baddereeva ku nvuga yaabwe, emyala egikoleddwa obulungi, obugazi bw’emmotoka we zigenda okuyita, ssaako n’okusimbako okuddo n’emiti okulabika obulungi.