ABOOBULABIRIZI bw’e Namirembe basonze obukadde obusoba mu 500 okutandika okuzimba ennyumba y’omulabirizi w’e Namirembe empya. Ennyumba eno esuubirwa okumalawo obuwumbi 4 n’obukadde bw’ensimbi 870.
Bino byabadde ku mukolo ogw’okutema evvuunike mu maka g’omulabirizi e Namirembe ogwakulembeddwa omulabirizi w’e Namirembe, Rt Rev Moses Banja nga gwetabiddwaako abaweereza ab’enjawulo, bakyala b’abaweereza abaawummula awamu n’abakristaayo.
Ku bano kwabaddeko ; Rt. Rev. Wilson Mutebi ow’e Mityana eyawummula, Rt. Rev. George Ssenabulya owa Central Buganda eyawummula, Rt Rev Rev. James Bukomeko ow’e Mityana, Margaret Kazimba mukyala wa Ssaabalabirizi, Canon Henry Ssegawa omuwandiisi w’obulabirizi bw’e Namirembe, Chancellor w’obulabirizi Fredrick Mpanga n’abalala.
Omulabirizi Banja yategeezezza nti ennyumba y’omulabirizi eyasooka tegenda kumenyebwa olw’ebyafaayo byayo eby’endagaano ya 1900 ng’esuliddwaamu abalabirizi mwenda okuli n’Abazungu bana abaasooka n’Abaddugavu bataano.
Yayongedde n’ategeeza nti baasalawo okuzimba ennyumba empya ejja mu kifaananyi ky’obulabirizi bw’e Namirembe bunnakazadde olw’okuba omulembe gwakyuka era yasabye abakristaayo bonna okuwagira omulimu guno.
Rt Rev George William Ssenabulya omulabirizi wa Central Buganda eyawummula eyabadde omubuulizi w’olunaku yabuuliridde Bannayuganda bonna bye bakola okubikolera mu musana era n’okubeera n’ekiruubirirwa ku buli kye bakola.
Oluvannyuma abakristaayo baasonze obukadde obusoba mu 500 obw’okuzimba ennyumba y’omulabirizi era n’abo abataasodde kuwaayo bakubiriziddwa okubeera abasaale mu kuzimba ennyumba eno ekitiibwa kya Mukama kirabisibwe.