Basiimye Uganda ku nkozesa ya ssente za Covid 19

Feb 25, 2023

ABAKUNGU okuva mu bbanka y’ensi yonna balaze obumativu ku ngeri Uganda gye yakozesaamu ssente ezaagivujjirirwa okulwanyisa ekirwadde kya Covid-19mu 2020.

Dr. Diana Atwine (ku ddyo) ne Rose Mary Mukami Kariuki okuva mu World Bank.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

ABAKUNGU okuva mu bbanka y’ensi yonna balaze obumativu ku ngeri Uganda gye yakozesaamu ssente ezaagivujjirirwa okulwanyisa ekirwadde kya Covid-19
mu 2020.

Rose Mary Mukami Kariuki akiikirira bbanka y’ensi yonna mu Uganda yategeezezza nti basiima n’engeri Uganda gye yalwanyisaamu Covid-19 so ng’ate
era n’enkozesa ya ssente ezaabaweebwa bazudde nti teriimu kalumira
konna.

N’agattako nti World Bank yaakwongera okuyambako Uganda
mu byobulamu. Okwogera bino baabadde basisinkanye abakungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu mu Kampala okukuba ttooki ku nkozesa ya ssente ezaabaweerezebwa
mu kulwanyisa Covid-19 mu pulojekiti ya ‘Uganda Covid19 response and emergency preparedness project.’ Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ministule y’ebyobulamu yannyonnyodde nti nga August 31, 2020 baafuna ssente obukadde bwa ddoola 195.5 okuva mu bbanka y’ensi yonna ng’ebitundu 93 ku ssente zino zaali za buyambi (grant).

Dr. Atwine yategeezezza nti baazikozesa okuzimba amakeberezo g’omusaayi agasukka mu 50, okugula eddagala erigema Covid 19, okugema n’okuwenja abalwadde ba Covid-19 ate n’okulwanyisa obulwadde

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});