Gavumenti ewaddeyo ebigenda okkozesebwa mu kubala abantu
Apr 28, 2024
Gavumenti ewaddeyo ebigenda okkozesebwa mu kubala abantu
Ebikozesebwa mu kubala abantu biweereddwayo
By Huzaima Kaweesa and Huzaima Kaweesa
Journalists @Bukedde
GAVUMENTI EWADDEYO EBIGENDA OKUKOZESEBWA MU KUBALA ABANTU N’ESABA BASSENTEBE B’EBYALO OKUKUNGA ABATUUZE OKUJJUMBIRA.
GAVUMENTI ewaddeyo ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’esaba abakulembeze b’ebyalo okukunga abantu okujjumbira entekateeka eno kubanga eyambako mu kuteekerateekera eggwanga.
Bino byogeddwa minisita omubeezi ow’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Amos Lugoloobi abyogeredde ku tterekero ly’ekitongole ky’embalirira ekya Uganda Bureau of Statistics e Ntinda bw’abadde atongoza entekateeka y’okuwereza ebinaakozesebwa mu kubala abantu okugenda okubeerawo okuva nga 10 ppaka 19 May 2024.
Okwekenneenya ebikozesebwa mu kubala abantu
Lugoloobi ategezezza nti Bannayuganda basaanye okukimanya nti okubala abantu kya buvunanyizibwa nnyo kubanga kiyamba okumanya butya eggwanga bweriyimiridde na biki ebinetagibwa mu kulikulakulanya.
Kyokka asabye abakulembeze ku byalo omuli bassentebe n’obukiiko bwabwe okumayisa abatu obulungi obuli mu ntekateeka eno kubanga waliwo abantu abamu abagenda bagyogerera amafukuule.
Entekateeka eno etandise ne disitulikiti ttaano okuli Apac, Gulu, Amolator , Otuke ne Alebtong nga zino ziweereddwa ebikozesebwa okuli kompyuta ez’ekika kya Tablets, T-shirt kw’ossa n’engoiye endala.
Ategezezza nga mu ntekateeka eno bwebaaguze kompyuta (tablets) 125,000 era nga entekateeka yonna w’enaggwera nga emazewo obuwumbi obukunukkiriza 320.
Kyokka Lugoloobi alabudde abo bonna abasuubira okukozesa obubi ebyuma bino ebiweereddwayo omuli okubibba n’okubibulanbkanya n’abategeeza nbga bwebajja okukwatibwa kubanga babikoze nga waliwo enkola ebirondoola wonna webiri.
Okwekenneenya ebikozesebwa
Kyokka ategezezza nga ebyuma bino oluvannyuma byebimu bwebiri eby’okweyambisibwa nemukukola emirimu emirala omuli okuzza obuggya endagamuntu, okulonda n’ebirala kubanga bya ggwanga.
Alambuludde nga ku mulundi guno bwebasazeewo okukozesa tekinologiya era nga basuubira nti mu myezi ebiri gyokka ebinaava mu kubala abantu bijja kuba bikomezedwawo.
Akulira ekitongole ky’embalirira ekya UBOS, Dr. Chris Mukiza alabudde abo bonna abasuubira okwenyigira mu ntekateeka eno nga tebaweereddwa lukusa okukikomya kubanga bajja kukangavvulwa.
Akakasizza nga bwebaataddewo abakozi abamala abagenda okuyambako mu ntekateeka eno n’asaba bannayunganda okugijjumbira.
No Comment