Bannayuganda bakuumirwa mu biyumba nga baatwalibwa mu nsi z'ebweru nga babasuubiza emirimu - Abensonga z’omunda

AMYUKA akulira ekitongole ekirwanyisa okukukusa abantu mu minisitule y'ensonga ezoomunda mu ggwanga , Derrick Kigenyi Basaalirwa, agambye nti waliwo Bannayuganda abawerako abakuumirwa mu biyumba nga baatwalibwa mu nsi z'ebweru nga babasuubiza emirimu.

Derrick Kigenyi Basaalirwa ng'ayogera.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Bannayuganda #bakuumirwa #biyumba #ebweru

Bya Godfrey Kigobero

AMYUKA akulira ekitongole ekirwanyisa okukukusa abantu mu minisitule y'ensonga ezoomunda mu ggwanga , Derrick Kigenyi Basaalirwa, agambye nti waliwo Bannayuganda abawerako abakuumirwa mu biyumba nga baatwalibwa mu nsi z'ebweru nga babasuubiza emirimu .

Kigenyi  ategeezezza nti muno mulimu ensi nga  Vietnam , Singapore , Malaysia n'ensi z' Abawarabu ezimu, Bannayuganda gye babonaabonera oluvannyuma lw'okuggyibwako ssente nga babasuubiza okubafunira emirimu , nga bangi mu biyumba, bamazeemu emyezi egiwerako.

Annyonnyodde nti ababatwala, tebakoma ku kubasuulayo kyokka, nti bakyukira ffamire zaabwe ze baaleka wano, ne babakubira amasimu nga babakanda ssente okusobola okuyimbula n'okukomyawo abantu bano be baatwala, ky'agambye nti kyabulabe.

Akubirizza abazadde n'abaana, okwewala abantu ssekkinnoomu, ababatuukira nga babalimba okubatwala ebweru babafunire emirimu, n'abawa amagezi okukolagana ne kkampuni ezimanyiddwa era ez'ewandiisa mu mateeka.

Mu kusooka, Basaalirwa, alabudde era abazadde, okwongera okukuuma abaana naddala ng'olusoma luzzeemu, okwewala abantu abawamba n'okukusa abaana nga n'abamu babalimba okubafunira baasale