Abakulembeze ba Taxi ne ba ddeereeva bayisizza ebivvulu okwebaza Pulezidenti Museveni olw'okuggyawo ebipapula ku mmotoka

BA DDEREEVA ba takisi ne bakondakita bayisizza ebivvulu okwetoloola Kampala nga beebaza Pulezidenti Museveni okuyimiriza ebipapula bya kkamera za poliisi ebyali bibakubibwa mu bukyamu   

Abakulembeze ba Taxi ne ba ddeereeva bayisizza ebivvulu okwebaza Pulezidenti Museveni olw'okuggyawo ebipapula ku mmotoka
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

BA DDEREEVA ba takisi ne bakondakita bayisizza ebivvulu okwetoloola Kampala nga beebaza Pulezidenti Museveni okuyimiriza ebipapula bya kkamera za poliisi ebyali bibakubibwa mu bukyamu

“Tetulina nsonga lwaki tetuyisa bivvulu okwetoloola ekibuga nga tulaaga okusiima kwaffe eri omwagalwa w’abangi Pulezidenti Museveni okubeera ng’asobola naffe abantu ba wansi okuwuliriza okukaaba kwaffe” Bwe batyo aba takisi bwebategeezezza.

Aba Taxi nga bayisa ebivvulu mu kibuga

Aba Taxi nga bayisa ebivvulu mu kibuga

Okukumba kuno kwakulembeddwamu ssentebe wa UTOF Rashid Ssekindi n’omumyuka we Musitafah Mayambala abakulembeddwamu bbandi nga baali wamu ne ba ddereeva baabwe wamu ne bakondakita abavudde mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo

Okuyisa ebivvulu

Okuyisa ebivvulu

 Batandikidde ku ppaaka enkadde ne betoloola okwambuka ku Burton Street ne begatta ku Luwum Street, Namirembe Road, Musajjalumbwa, Kisenyi, Kafumbe Mukasa , Clock Tower, Ben Kiwanuka olwo ne baddayo ku ppaaka enkadde wakati mu kulekanira waggulu nga beebaza Museveni okumanya ennaku ya batakisi kubanga ebipapula bino byali    bigenda kubagoba mu mulimu gwabwe.

Aba taxi nga bayisa ebivvulu

Aba taxi nga bayisa ebivvulu

“Okumanya singa teyali Museveni kubeera nti alumirirwa abantu ba wansi bakulembeera singa kati takisi zaffe zateekebwa dda ku nnyondo okutundibwa okusobola okusasula ebipapula bya kkamera za  poliisi bye bali batukuba buli luguudo lwokwatako” Ssekindi bweyategezezza.

 Enkola eya “EPS Auto” ssente poliisi zeyali etadde ku ngaasi y’emisango gye bali batukubirako ebipapula terina kalungi konna kagirimu kubanga omuntu omugamba otya okuvuga ku sipiidi 30 okuva e Kampala okutuuka e Ntebbe olwokuba ayita ku massomero, amalwaaliro, obubuga ne kalonda omulala olwo mu butuufu obeera  ne kigendererwa ki eri bannayuganda bano.

Aba Taxi nga bayisa ebivvulu mu kibuga

Aba Taxi nga bayisa ebivvulu mu kibuga

Ebipapula bino bwe byanyikira twadukira ewa minisita w’ebyentambula Gen. Katumba Wamala  eyabiyimiriza kyokka enkeera walwo Pulezidenti Museveni nasinziira e Kololo nga basoma bajeti y’e ggwanga n’agamba nti kkamera z’oku nguudo taziteeka ngawo ku kunganya misolo wabula zaali za kumalawo battemu abali batta abantu  nga bakozesa ebiduuka motoka ne bboda okuduuka ekibadde kigenda kikendera.