Bannamawulire basabiddwa okubeera abasaale mu kumanyisa abantu ebifa ku kirwadde ky'enkizi
ABAAMAWULIRE mu Greater Masaka babanguddwa ku ngeri gye bayinza okuyambamu abantu okumanya n'okwewala obulwadde bw'enkizi n'amazzi amangi mu mitwe ekigiviirako okuzimba nti obulabika nga bweyongedde nnyo mu baana.
Bannamawulire ba Greater Masaka nga bamaze okubangulwa
By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision
ABAAMAWULIRE mu Greater Masaka babanguddwa ku ngeri gye bayinza okuyambamu abantu okumanya n'okwewala obulwadde bw'enkizi n'amazzi amangi mu mitwe ekigiviirako okuzimba nti obulabika nga bweyongedde nnyo mu baana.
Ekitongole ky'ebyobulamu ekitadde essira ku bulwadde buno ki Spina Bifida and Hydrocephalus Association Uganda (SHAU), kye kyategese omusomo guno ogubadde ku Ssaza e Masaka.
Ritah Nansamba omutegesi omukulu yategeezezza nti okunoonyereza okukoleddwa mu malwaliro ag'enjawulo kulaga nti obulemu bw'enkizi n'emitwe mu baana abazaalibwa bulabika nga bweyongera buli olukya nti kwe kusitukiramu wabeewo ekikolebwa mu kubuziyiza n'okuyambako mu kujanjaba abakoseddwa.
Yayongeddeko nti waliwo n'entekateeka gye baatumye Collective Action For Disability Rights, nti egendereddwamu okulaba ng'abaana n'abantu abakulu abaliko obulemu,bafuna eddembe lyabwe ery'obutasosolwa mu bitundu gye bawangalira,n'asaba abaamawulire okwongera okunyikiza enjiri eno.
Farish Magembe Pulezidenti wa Greater Masaka Journalists Association (GREMAJA) ekibiina ekigatta abaamawulire mu kitundu yagumiza nti bagenda kuyambako naddala mu kuzuula abazadde abatesobola nga batubidde n'abaana abakoseddwa obulwadde buno nti babalage eri ensi bayambibwe.