ABANTU 21 bebasunsuddwamu mu lunaku olusoose okuvuganya ku bifo eby'enjawulo eby'obubaka bwa Palamenti mu Disitulikiti ye Luweero.
Okusunsula kuno kukulembeddwamu atwala eby'okulonda Sam Agaba ng'ayambibwako Abakungu abalala mu kakiiko k'ebyokulonda mu kitundu kino nga kubumbujjidde ku kitebe Kya disitulikiti ye Luweero.
Eyaliko Ssentebe wa Disitulikiti ye Luweero azze kuvuganya ku kifo Kya Katikamu North
ABEESIMBYEWO NGA BWEBASUNSUDDWA:
Webuzibidde nga Agaba asunsudde abantu abantu bano wammanga;
Katikamu North: Denis Ssekabira NUP ng'ono yali mu kifo kino, Ronald Ndawula wa Leediyo, Umar Kasule, Ronald Kasajja Bazanyannengo wa DF. Ate owa PFF Milly Nattembo naye yewandiisizza.
Katikamu South:
Micheal Kintu Ali ku Kabonero ka Ntebe, Hassan Kirumira Lukalidde Munna NUP (Ali mu kifo kino), Zena Nasur Munna NRM Ali ku kabonero Meeza, Patricia Magara Akabonero Ssaawa, Peter Nsibambi Kimanje Akabonero Ttaala.
Milly Nattembo owa PFF ne Marvin Mugisha Munna NRM Ali ku Kabonero k'Omupiira basunsuddwa.
Bamunanika;- Robert Ssekitoleeko owa NUP (nga yaliyo) Tom Ssewabuga nga mu kiseera kino ye Ssentebe wa LC3 e Kalagala Munna NUP naye ajjidde ku Kabonero ka Ntebe.
Omubaka Robert Ssekitoleeko ( ku ddyo) bwabadde atuuka ku kitebe Kya Disitulikiti e Luweero okusunsulwa. Ku kkono ye Erasto Kibirango nga ye Ssentebe wa disitulikiti ye Luweero
Omubaka Omukyala owa Luweero:
Brenda Nabukenya Owa NUP nga yali mu kifo kino, Moureen Nakuya owa DF, Agnes Kirabo owa NRM ne Rahma Bisaso Ali ku Bwannamunigina ng'akabonero Ssaawa.
Ebyokwerinda bibadde binywevu ng'okusunsula kugenda mu maaso. Poliisi ebadde tekkiriza beegwanyiza ebifo bino kuyingira n'abawagizi nga bazze naabo bokka abagenda okubasemba.
Kampeyini zaabo abagenda okwesimbawo zigenda kutandika nga November 10,2025 era mu bbanga lino tebakkirizibwa kukuba Kampeyini.
Okulonda kw'ababaka ba Palamenti kwakubeerawo nga January 15,2025.