Lotale y’e Nnalumunye bagemye abaana nga beetegekera okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa Polio
Nga Uganda yetegekera okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw'obulwadde bwa Polio oluberawo buli mwaka nga 24th October , Bannayuganda bakubiriziddwa okugemesa abaana okulaba nga obulwadde buno busanirawo ddala.

Aba Rotary nga bagema abaana
Mu kawefube w’okwongera okumanyisa abantu ku bulabe bwa Polio, ekibiina kya Lotale y’e Nalumunye nga bakulembedwamu pulezidenti wabwe Deborah Kemigisha Kakande bakulembeddemu okugema abaana mu kitundu kino abali eyo mu 100.
Kakande agamba obulwadde bwa Polio bugenze bukendeera mu ggwanga kyokka kyabuvunaanyiizibwa okulaba nga bakwasizaako gavumenti okubumalirawo ddala mu ggwanga.
Akubiriza abazadde okufaayo omugemesa abaana polio n'okukuuma ebiwandiiko ebibaweebwa kubanga byamugaso nnyo eri abaana bano.

Aba Rotary nga bagema abaana
Mumbejja Zalwango omusawo ku kyaalo kino, era nga yakulembedemu abasawo mu kugema kuno ategezeza nti basanga okusomozebwa kwa maanyi olw’abazadde abamu abatafaayo kugemesa baana babwe okwo saako abo abasalawo okusindiika baana banaabwe okutwala bato baabwe mu malwaliro nga tebamanyi nabikwaata ku baana bano.
Harriet Kabayesa owa bakyala ku kyalo Nalumunye yeebaziza ab’ekibiina kya lotale kino olwokulowooza ku bantu b omukitundu kyabwe kubanga n'abamu balemererwa okugenda ku disitulikiti ye Wakiso gyebafunira okumesa.