Abantu 30 bebaasunsuddwa okuvuganya ku bifo by'obubaka bwa paalamenti mu disitulikiti ye Tororo.
Ku basunsuddwa kuliko Hon Jacob Oboth Oboth owa NRM ayagala okuddamu okukikirira West Budama County ne Hon Geoffrey Ekanya owa Tororo County.
Okususunsulwa
Mu disitulikiti ya Busia 11 bebasunsuddwa ate e Mbale abantu 17 bebaasunsuddwa okuvuganya kubifo ebyenjawulo.
E Bulambuli abantu 17 bebaasunsuddwa ate nga e kweni bali 5 sso nga Butalejja abantu 7 bebasunsuddwa nga bano bonna kuliko abakiika mu constituencies ssaako naabo abakazi abakikirira disitulikiti.
Okususula abaagala ekifo kya Palamenti mu bitundu bya Elgon
Akulira eby’okulonda mu Elgon Region Hajjat Sarah Bukirwa yagambye nti okwewandiisa okwetoloola Elgon Region kwatambudde bulungi era tewali yafunye kutataganyizibwa kwonna.
Yagambye nti basuubira nti enkya teri agenda kufikka kuba abasinga abagenze okwewandiisa babadde balina buli kyetagisa ekyabasabibwa akakiiko.