Amawulire

Baleese akatambi mu gw'okutta ssentebe wa NRM

OLUDDA oluwaabi lwa kkooti y'amagye luleese akatambi mu kkooti akalaga abawawaabirwa nga bakkiriza okutta ssentebe wa NRM.

Baleese akatambi mu gw'okutta ssentebe wa NRM
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Akatambi kaaleeteddwa Sgt Okello Micheal Jackson ng’abuulidde kkooti nti okukwata akatambi kano abawawaabirwa bakkirizza okubatwala gye baddiza omusango n'okubalaga engeri gyeebaguzzaamu.

Abawawaabirwa kuliko Barnabus Alleluia ,Herbert Mutamba ne Deus Ahimbisibwe era mu akatambi baatwala aba poliisi e Fort Portal we baggya Kabagambe okutuuka e Mbarara gye baasuula omulambo gwe.

Abawawaabirwa nga boogerako ne looya waabwe Nsubuga.

Abawawaabirwa nga boogerako ne looya waabwe Nsubuga.

Japheth Kabagambe eyattibwa yali ssentebe wa NRM e Ntoroko nga yawambibwa bwe yali Ava mu bbanka e Fort Portal era omulambo gwe ne gusangibwa ku mugga Mpanga e Mbarara oluvannyuma lw'ennaku nga bamunoonya.

 Okello abadde akulembeddwa Lt Gift Mubehamwe n’abuulira kkooti nti bano era bakkiriza okwenyigira mu butemu obw’enjawulo mu bitundu bw’obukiika kkono.

Kyokka akatambi kawakanyiziddwa ppuliida w’abawawaabirwa Capt. Nsubuga Busagwa ng’agamba baagatta bigatte ng'abantu bano baali bakubiddwa ne basooka bakkiriza.

Omuwabuzi wa kkooti mu mateeka Col. Richard Tukachungura alagidde Okello aleeta kkaadi ya kkamera okuli oligino y’ebyo bye yakwata. Omusango gwakuddamu nga January 10, 2023.

Tags:
Amawulire