ABATUUZE mu Nansana West 2 A zzooni Nakkuule, balaajanidde be kikwatako okubayamba ku bavubuka abakola eggaali ne babanyaga ekiro.
Kitegeezeddwa nti eggaali eno, esinga kukolebwa wakati w'essaawa nga 4 ez'ekiro okutuuka ku 5 , olwo ne babba abasaabaze n'abatuuze naddala mu makubo.
Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino, Dickson Mayiga, ategeezezza nti babeera batambulira mu bibinja eby'enjawulo olwo n'ebeera kumpi buli kintu kye babeera basanga n'abatambuze mu makubo.
Mu ngeri y'emu era, agambye nti n'obubbi bw'okumenya amayumba n'okuteega nga beeyambisa ppeeva , nabwo mwe buli, ne basaba , be kikwatako okubayamba.
Mu kiseera ky'ekimu era , asabye abakulembeze mu munisipaali y'e Nansana, okubayamba ku luguudo oluva ku Jenina lwe bayita Ring road , nti mu kiseera kino, luli mu mbeera mbi.