AMAGYE ne poliisi byazinzeeko ofiisi z’ekibiina kya NUP e Kamwokya ne batwala kompyuta n’ebintu ebiwerako, n’okukwata abamu ku bakozi b’ekibiina.
Omukulembeze wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yasinzidde ku mukolo kwe yasisinkanidde abakulembeze b’ekibiina abaavudde e Mukono n’ategeeza nga ofiisi zaabwe bwe zaalumbiddwa amagye ne poliisi ku Mmande ku makya awatali nsonga.
Ekifo ekyalumbiddwa kye kyali ekitebe kya NUP nga tekinnasengulwa kudda ku Kavule ne kituumibwa National Unity Platform Leadership Training Center.
Kigambibwa nti abeebyokwerinda abaabadde mu ngoye eza bulojjo baalinnye ekikomera ne bagwa munda ne baggulawo oluvannyuma poliisi n’amagye ne bayingira ne bayoola abakozi abasoba mu 10 be baasanzeewo ne babatwala. Kuno kwe baagasse
okutwala kompyuta gattako okuyoola ebizimbisibwa okwabadde seminti n’emitayimbwa awamu n’ebyambalo by’ekibiina. Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza Bukedde nti ekikwekweto
ekyakoleddwa mu kifo ekyo tannakimanyaako mu butongole n’asuubiza nti agenda kunoonyereza okuzuula b’ani abaabadde mu kikwekweto ekyo.
Kyagulanyi yagambye nti wadde nga bayita mu kusoomoozebwa kuno naye tebagenda kuggwaamu maanyi kuba bakimanyi nti bagoba agulina, era tekijja kubaterebula. “Mbasaba mubeere beegendereza nga mukola ebyobufuzi byammwe kubanga obulippo
bungi obubalinze nga n’abamu baabugwamu dda,” Kyagulanyi bwe yagambye.
Yasuubizza nga bw’agenda okuddamu okutalaaga eggwanga lyonna ng’asaggula obuwagizi era n’asaba abantu okumwaniriza naddala e Masaka.
NAMBOOZE AYUNGUDDE AB’E MUKONO NE YEENYWEZA EWA BOBI
Omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke yaloopedde Kyagulanyi ng’abamu ku bannaabwe okuli; Mmeeya w’e Mukono Erisa Nkoyooyo ne ssentebe wa disitulikiti Rev. Bakaluba Mukasa bwe baabavaako ne batandika okukolera
Gavumenti era y’ensonga lwaki ne mu lukiiko tebaabaddewo.Nambooze yanenyezza abakozesa Obwakabaka nga bagezaako okulaga nti ekibiina kya NUP kirwanyisa
Obwakabaka olw’okuba mulimu abantu abaagala okumanya ebifa ku Kabaka.
“Buli muganda alina eddembe okumanya ebifa ku Kabaka we. Wadde waliwo abagezaako okutiisatiisa buli ayogera ku Kabaka naye ekyo si kituufu kuba ddembe
yammwe kuba guli musaayi,” Nambooze bwe yagambye. Abakulembeze abalala wabaddeko; Hanipher Nabukeera (Mukazi/Mukono), Fred Ssimbwa (Nakifuma), Abdalah Kiwanuka (Mukono North) ne bakansala abali ku kkaadi ya NUP.