Amawulire

Alumbye muganzi we mu muzigo n’amuyiira asidi

POLIISI mu disitulikiti y’e Rakai eri ku muyiggo gw’omuvubuka Rogers Musinguzi omutuuze ku kyalo Kabungo mu Town Council y’e Ddyango e Rakai nga kigambibwa nti, ono yakkakkanye ku muganzi we Olivia Atungirwe ow’emyaka 20 n’amuyiira asidi n’ekigendererwa ekitannategeerekeka bulungi.

Olivia Atungirwe, agambibwa okuyiirwa asidi muganzi we ng’ali mu ddwaaliro e Rakai ng’apooca.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

POLIISI mu disitulikiti y’e Rakai eri ku muyiggo gw’omuvubuka Rogers Musinguzi omutuuze ku kyalo Kabungo mu Town Council y’e Ddyango e Rakai nga kigambibwa nti, ono yakkakkanye ku muganzi we Olivia Atungirwe ow’emyaka 20 n’amuyiira asidi n’ekigendererwa ekitannategeerekeka bulungi.
Abaagalana bano baludde nga baagwa mu mukwano ng’era kigambwa nti, Musinguzi ye yasasulira Olivia ebisale by’essomero bwe yali ng’asoma okusiiba enviiri ng’era ono y’omu yamutandikirawo ne ssaluuni y’abakyala mw’abadde akakkalabiza emirimu.
Wabula ng’omulungi bw’atabulako kamogo, bano bazze bafuna obutakkaanya obutali bumu nga beerumiriza obwenzi nga n’olumu Musinguzi yasaba Olivia okumuddiza ensimbi ze zonna z’azze amuteekamu omuli n’okumusomesa, ng’ensonga zino zaatuukako ne mu bakulu ku poliisi e Kibaale.
Annet Akire, nnyina wa Olivia eyasangiddwa ku ddwaaliro eri muwala we apooca n’ebisago yategeezezza nti, muwala we ne mukoddomi we baasoose kulwanagana n’ekyaddiridde omuko kwe kuva mu mbeera n’ayiira muwala we asidi.
Ono era agamba nti, guno si gwe mulundi ogusoose ono okuyiira muwala we asidi, kati ng’ayagala ab’obuyinza okubaako ne kye bakola era bakwate omuko amateeka gamulamule olw’ensonga nti, abadde akyogera lunye nti, waakumumufiiriza.
Abamu ku batuuze n’abakulembeze mu kitundu kinobaabuuse enswa era baavumiridde ekikolwa kya Musinguzi eky’okudda ku muwala waabwe n’amutuusaako obulabe, nga baagala amateeka gamulamule.
Ye Umar Ssebalinde, amyuka ssentebe wa disitulikiti y’e Rakai asabye abafumbo okukozesanga abakulembeze mu bitundu byabwe okugonjoola obutakkaanya bwabwe, kino kiyambeko mu kukendeeza obuzzi bw’emisango nga gino.
Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu ly’e Masaka, Afande ASP Twaha Kasirye yavumiridde ekikolwa kino wabula n’ategeeza nga bwe baatandise omuyiggo ku kalibutemu ono era n’amuwa n’amagezi aveeyo gye yeekukumye yeeweeyo mangu mu b’obuyinza agende mu maaso n’okuvunaanibwa

Tags: