Abaakasukidde mmotoka ya Alien Skin amayinja ne bagyonoona poliisi ebayigga

Kigambibwa nti Alien Skin yabadde Iganga, ng'ayimba ku mikolo gy'abakyala egyetabiddwako Katikkiro Robinah Nabbanja.

Abaakasukidde mmotoka ya Alien Skin amayinja ne bagyonoona poliisi ebayigga
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Robinah Nabbanja. #Alien Skin #Busoga East

Poliisi eyigga abavubuka abagambibwa okukkakkana ku mmotoka y'omuyimbi Patrick Mulwana amanyiddwa nga Alien Skin ne bagikasukira amayinja agajoonoonye.

Kigambibwa nti Alien Skin yabadde Iganga, ng'ayimba ku mikolo gy'abakyala egyetabiddwako Katikkiro Robinah Nabbanja.

Kigambibwa nti Katikkiro olwavuddewo, Alien Skin n'alinnya ku siteegi ne wabaawo akavuyo omu ku bawagizi ba Alien Skin n'akubibwa n'ayiika omusaayi, ekyanyiizizza abalala ne bakasukira emmotoka ye amayinja.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Busoga East, Micheal Kafayo, agambye nti bali mu kunoonyereza ku baavuddeko akavuyo n'abaayonoonye emmotoka y'omuyimbi oyo.