OMUTAKA Nakigoye Nabimba Lukaabya Wilson akuliira ekika ky’Ekinyomo avuddeyo n'akowoola Abaganda bonna okwagala ennyo ebika byabwe era baweereze mu ngeri yonna esaanidde okunyweza obumu mu bika n’okwagalana.
Bino Nabimba yabyogeredde Busabala ku mukolo abamyuka ba katikkiro w’ekika kino we beeyanzirizza obwami n'ategeeza nga ebika bwe biri nnamuziga ennono za Buganda kwe zitambuliira era nga birina okuweebwa ekitiibwa n'okukulaakulanyizibwa okweyagaza abantu bonna.
Wano omutaka Walusimbi ow’ekika ky'effumbe we yasinzidde n'asomooza Abaganda okwongera okuzaala ennyo okulaba nga ebika byogera okukula n’okugaziwa n'ategeeza nti singa okuzaala bakubuusa amaaso abantu bangi beesomye okusanyaawo Buganda n’okwezza ettaka lyabwe.
Bo abaalondeddwa okuli; Kalinzi Kafunvu ne Kalinzi Ntamu baweze okukola obuteebalirira okutuukiriza obuvunaanyizibwa ku bifo by'obumyuka bwa katikkiro bw’ekika kino okulaba nga ekika ky'Ekinyomo kikulaakulana mu ngeri esaanidde.

Omutaka Nakigoye Nabimba Wilson(mu Ganduula) Akuliira Ekika Kye Kinyomo Addiriddwa Omutaka Walusimbi( Mu Byeru) Akuliira Ekika Kye Ffumbe Nga Bali Ku Mukolo