AKULIRA enzikiriza y'Obumu Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka asabye abantu okulonda Pulezidenti Museveni nga January 15th asobole okukuuma emirembe gyeyareeta emyaka 40 egiyise.

Ab'enzikiriza y'obusobozi nga bakung'aanye
Bino Owobusobozi yabyogeredde ku kyalo kikanda mu ggombolola ye Nyamarundu mu disitulikiti ye Kibaale bweyabadde akyusa abantu 340 abaavudde munzikiriza endala nebadda munzikiriza y'Obumu.
Bissaka yagambye nti Museveni yareeta emirembe gy'abantu okusinza mu ddiini zebaagala nga mukino balina okumwebaza kuba eggwanga lirimu emirembe.

Ab'enzikiriza y'obusobozi nga bakung'aanye
Abantu abasoba mu 1145 Bisaka ya basisinkanye yabakuutidde okulonda abesimbiddewo ku kaadi ya NRM mu bifo eby'enjawulo basobole okufuna empereza za Gavumenti.
Yabakutidde okukuuma obumu ssaako okuwagira enteekateeka za Gavumenti ezikulakulanya omuli PDM, Emyooga nendala ate nabasaba okuzisomesa abalala.
Ye minisita w'ebyensimbi Matia Kasaija yebazizza nnyo Bissaka olw'okwagaziza abantu obumu ssaako okwagala ensi yaabwe era nabakutira obutetaba mubikolwa bya butabanguko
Yasinzidde wano nakwasa Owobusobozi tulakita ng'eno yamuweleddwa pulezidenti Museveni okusobola okwanguya eby'obulimi mu nzikiriza y'Obumu.