Amawulire

Bannayuganda bajjumbidde emisinde gy'okulwanirira eddembe ly'ebinyonyi

Abalwanirizi b'obutonde beetabye mu misinde mubuna byalo egyatuumiddwa “run for birds” egyasookedde ddala nga gino gyagendereddwamu okumanyisa bannayuganda ku ddembe lyebinyonyi.   

Abamu ku beetabye mu misinde nga badduka
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Abalwanirizi b'obutonde beetabye mu misinde mubuna byalo egyatuumiddwa “run for birds” egyasookedde ddala nga gino gyagendereddwamu okumanyisa bannayuganda ku ddembe lyebinyonyi. 

Abamu ku beetabye mu misinde

Abamu ku beetabye mu misinde


 Emisinde gino egyategekeddwa aba Avian Conservation Uganda (ACUS) gyetabiddwamu abaddusi abasoba mu 200 nga gyasimbuddwa okuva ku woteeri ya Sheraton okwetoloola Nakasero.
Uganda erimu ebika byebinyonyi ebisoba mu 1,090 ebikola ebitundu 11 ku buli kikumi ku muwendo gwebinyonyi mu nsi yonna nga omwaka biyingiza ensimbi obukadde 700 eza doola wabula nga bibadde mu kaseera akazibu olwabantu abeeyongedde okutema emiti, okufuuyira ebirime nebirala ebitaatagnya okubeerawo kwebinyonyi.   
Mu kaweefube wokumanyi bannayuganda ku migaso gyebinyonyi emisinde gino gyategekeddwa mu bitundu okuli kampala, Kisoro ne kibale okumalawo okusoomozebwa kwembeera zenyonyi.

Abeetabye mu misinde nga babasimbula

Abeetabye mu misinde nga babasimbula


Akulira Avian Conservation Uganda, Tumwesgye Erasmus yasinzidde mu misinde gino nasaba bannayuganda okukuuma ebinyonyi okusobola okukuuma ebiseera byeggwanga ebyomumaaso mu byobulambuzi.
Akulira Sheraton hotel Jean Phillippe era omuddusi omukulu yakubirizza abebyobulambuzi okukozesa ebyemizannyo okutambuza obubaka bwebyobulambuzi.
Charles Okech yeyawangudde emisinde gino nga yaddiriddwa Edian Nuwahereza
Tags: