Akulira eby'okulonda e Wakiso, Tolbert Musinguzi ategezezza nga abantu 62 bebakalaga okwagala okwewandiisa ku bifo by'ababaka eby'enjawulo mu disitulikiti ye Wakiso.
Musinguzi yagambye nti munteekateeka y'okusunsula balaze buli constituency lwegenda okwewandiisa mu nnaku ebbiri ezaatekeddwawo akakiiko k'ebyokulonda.
Yalaze nti enkya ku Lwokusatu bagenda kukola ku baagala eky'omubaka omukyala owa disitulikiti, mumisipaali ye Nansana, munisipaali ya Kira, Makindye Ssabagabo ne Ntebe.
Ku Lwokuna bagenda kukola kubagala eby'obubaka mu Kyadondo East, Busiro East, Busiro North ne Busiro South.
Yategezezza nti abagenda okwewandiisa nababeyimiridde baddembe okwambala engoye z'ebibiina byabwe wabula nga bagoberera amateeka g'akakiiko k'ebyokulonda agaatereddwawo.
Ye RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi yalabudde abagenda okwewandiisa obutatambula na ggaali kuba okukuba kampeyini tekunnatandika.
Yagambye nti bagenda kukkiriza abantu 10 bokka kukitebe kya disitulikiti sso nga munda ewasunsulwa bagalayo abantu 4 bokka.
"Buli muntu yategese ekifo wagenda okwogerako nabawagizi be ng'amaze okwewandiisa, tetusuubira kulaba ku ggaali oba oluseregende lw'emmotoka mu makubi." Mbabazi bweyayongeddeko.
Yategezezza nti eby'okwerinda byanywezeddwa kukitebe kya disitulikiti era ne mmotoka tezigenda kukkirizibwamu munda mu kitebe okureka ezaabo abagenda okuwandisibwa.