Amawulire

AIGP Charles Kataratambi afudde

Assistant Inspector General of Police (AIGP) Charles Kataratambi afudde okusinziira ku mawulire okuva ku mikutu gya poliisi.

omugenzi Charles Kataratambi
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Assistant Inspector General of Police (AIGP) Charles Kataratambi afudde okusinziira ku mawulire okuva ku mikutu gya poliisi.

Okufa kwe, kulangiriddwa ku mikutu gya poliisi era abamu ku b'enganda ze, bategeezezza nti afiiridde mu ddwaaliro ly'e Nakasero mu Kampala, gy'amaze ennaku ttaano ng'ali mu kujanjabibwa

Kataratambi yaddamu okukola emirimu mu mwaka gwa  2024 President Museveni bwe yalonda Abas Byakagaba ng'omuduumizi wa poliisi mu ggwanga. Yali amaze emyaka kumpi mwenda ng'ali ku katebe .

Yabadde akulira  Directorate of Human Rights and Legal Services, ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'amateeka n'eddembe ly'obuntu mu poliisi.

Kataratambi yakolako nga O/C wa poliisi mu ppaaka ya takisi enkadde, n'abeerako omuduumizi wa flying squad mu ggwanga n'ebifo ebirala mu poliisi. Ebyokuziika , tebinnamanyika

Tags: