Amawulire

Agambibwa okuyuzaayuza ebipande bya Pulezidenti Museveni waakunaanibwa mu kkooti

Omuvubuka ow'emyaka 30 agambibwa okutimbulula ebipande bya Pulezidenti Museveni n'okubirinnyako, akwatiddwa poliisi.

Agambibwa okuyuzaayuza ebipande bya Pulezidenti Museveni waakunaanibwa mu kkooti
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuvubuka ow'emyaka 30 agambibwa okutimbulula ebipande bya Pulezidenti Museveni n'okubirinnyako, akwatiddwa poliisi.

Okukwatibwa kw'omuvubuka ono, Isaac Nsubuga omutuuze w'e Lubya mu munisipali ya Rubaga mu Kampala, kiddiridde vidiyo okusaasaanyizibwa ku mikutu egy'enjawulo ng'omuvubuka ono alinnya ku bipande wansi.

EYakwatiddwa

EYakwatiddwa

Kigambibwa nti era abadde yeewera okugenda ng'atimbulula ebipande byonna n'okubiyuza era nga waliwo bye bamukutte nabyo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick  Onyango, ategeezezza nti bamugguddeko omusango gw'okuyuzaayuza n'okwonoona ebipande era nga waakutwalibwa mu kkooti.

Tags:
Amawulire
Museveni
Kukwatibwa
Kuvunaanibwa
Kuyuzaayuza