Amawulire

Agambibwa okutta abaana e Ggaba waakuwozesebwa mu kifo kyennyini awazzibwa omusango wiiki ejja ku mmande

ENTEEKATEEKA z’okuwozesa omuvubuka Christopher Okello Onyum agambibwa okutta abaana e Ggaba ziwedde, Ku Mmande kkooti yaakutuula e Ggaba omusango guwulirwe.

Agambibwa okutta abaana e Ggaba waakuwozesebwa mu kifo kyennyini awazzibwa omusango wiiki ejja ku mmande
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision

ENTEEKATEEKA z’okuwozesa omuvubuka Christopher Okello Onyum agambibwa okutta abaana e Ggaba ziwedde, Ku Mmande kkooti yaakutuula e Ggaba omusango guwulirwe.

 

Minisita w’abaana n’abavubuka Balam Barugarahara ng’ayita ku mukutu gwe ogwa X emanyiddwa nga Twitter ategeezezza nti enteekateeka zonna okuwozesa Okello ziwedde era kkooti yaakutuula e Ggaba awaali ettemu ng’abantu 1000 be bajja okukkirizibwa mu kkooti eno.

Okello mu kaguli ka kkooti ng'awuliriza

Okello mu kaguli ka kkooti ng'awuliriza

Ayongeddeko nti wagenda kuteekebwawo entimbe ggaggadde okuweereza abantu ebifaananyi okusobola okwetegereza n’okuwulira ebigenda maaso mu kkooti eno nga buli omu w’atudde alaba bulungi ekigenda mu maaso.

 

Kkooti yaakutandika ku Mmande nga April 13, 2026 okuva ssaawa ssatu kumakya okutuuka ku ssaawa 10 ez’olweggulo okumala wiiki nnamba.

 

Abantu abaneetaba mu lutuula luno balabuddwa obutajja na bintu ebiyinza okutaataganya ebyokwerinda  nga ensawo ennene era basabiddwa okwetabamu okunyweza enkola y’amateeka mu ggwanga Uganda.

 

Eggwanga lyagwamu encukwe  nga April 2, 2026 omuvubuka Okello bwe yalumba ekifo awakuumirwa abaana ekya Ggaba Community Childhood center n’atta abaana okuli  Eteku Gideon ,Ongwenworth Keisha, Ignatius Sseruyange ne Ryan odeke ng’abasogga ebiso.

 

Obumu ku bujulizi oludda oluwaabi bwe lusuubira okwesigamako kwe kunoonyereza kwa bambega abaazudde nga Christopher Okello Onyum 39, munnansi wa America alina ebbaluwa okuva mu kitongole kya Interpol ekiraga nti yeeyisa bulungi era talina kikyamu ku mutwe kubanga by’ayogera bikwatagana bulungi wabula yeenyigira mu bikolwa by’okwelaguza ng’ayagala okufuna obugagga kwe yasinzidde okusalaasala abaana bano agaggawale.

 

Obulizi obulala kuliko ebbaluwa za basawo okuva mu ggwanika e Mulago eziraga nti Okello ng’akozesa ebiso yasogga abaana bano buli omu mu bulago ku ludda lwa kkono n’abasala emimiro era baafa olw’ebisago bye baafuna ng’era baavaamu n’omusaayi omuyitirivu.

 

Obujulizi bulambika nti Okello abadde ayingira n’okufuluma eggwanga enfunda eziwera ng’ayita ku nsalo e Busia, ng’alina ssente mu bbanka z’atambuliza ku ssimu ye era yakozesa enkola eyo okufuna ssente ze yasasula ku ssomero lya Ggaba nga yeerimbise mu kubeera nti asabira mwana we ekifo asomere eyo.

 

Oludda oluwaabi era lugenda kwesigama ku bifaananyi bya kkamera z’oku nguudo bye zaakwata ebiraga entambula ya Okello ku lunaku olwaddirira lwe yakola ettemu ne lwe yakola ettemu eryo n’ebirala.

Tags:
Okello
Ggaba
ECD