Amawulire

Eyasse abaana e Ggaba bamuleese mu kkooti

Omuvubuka Christopher Okello Onyum eyasse abaana bana e Ggaba ku kifo awaakunirwa abaana aleeteddwa mu kkooti avunaanibwe emisango egiva ku bikolwa bye

Eyasse abaana e Ggaba bamuleese mu kkooti
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision

Omuvubuka Christopher Okello Onyum eyasse abaana bana e Ggaba ku kifo awaakunirwa abaana aleeteddwa mu kkooti avunaanibwe emisango egiva ku bikolwa bye.

 

Ono aleeteddwa wakati mu byokwerinda eby’amaanyi ,kyokka alaze ab’aamawulire emikono ng’agamba bamutulugunyizza.

 

Okello bw’omutunuulira muvubuka mutono era endabika eraga nti ali mu mbeera nnungi wadde nga talina bbwa lyonna.

 

Tags:
Okello Onyum
Kutta
Baana
Ttemu