Amawulire

Agambibwa okusaasaanya ebikwata ku kakiiko k'ebyokulonda nga tafunye lukusa kkooti emuzizzaayo e Luzira!

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa omuwaabi wa gavumenti Joan Keko ne Allan Mucunguzi baayanukudde okusaba okwateekebwayo bannamateeka be bwe yali asaba okweyimirirwa mwe baawakanyirizza okusaba kwe baateekamu.

Agambibwa okusaasaanya ebikwata ku kakiiko k'ebyokulonda nga tafunye lukusa kkooti emuzizzaayo e Luzira!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

Ebya Sarah Bireete agambibwa okusaasaanya ebikwata ku kakiiko k'ebyokulonda nga tafunye lukusa, okumuyimbula ku kakalu ka kkooti bijulidde oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okusimba ekkuuli ne bawakanya okusaba okweyimirirwa.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa omuwaabi wa gavumenti Joan Keko ne Allan Mucunguzi baayanukudde okusaba okwateekebwayo bannamateeka be bwe yali asaba okweyimirirwa mwe baawakanyirizza okusaba kwe baateekamu.

Bano balumye n'ogwengulu nga bagamba nti ebbaluwa eyaleetebwa mu kkooti eraga nti alina obulwadde obumutawaanya tebalina bukakafu nti tebusobola kujjanjabwa basawo ba kkomera.

Kuno kwe baagasse eky’okuba nti Bireete ekifo ky’alimu n'obututumufu bwe ayinza okubikozesa okutaataaganya omusango guno n'addala mu  kunoonyereza .

Ku nsonga y’abeeyimiridde Bireete baategezezza nga bwe batalina bisaanyizo bimala kumweyimirira kuba tebaabadde na biwandiiiko biraga mirimu gye bakola era nti ssinga alemererwa okulabikako eri kkooti bayinza okulemererwa okusasula omutango oguyinza okubasalirwa.

Wano we baasabidde omulamuzi okugoba okugoba okusaba kw'okweyimirirwa kwa Bireete nga beesigama ku nsonga ya butaba na bamweyimirira balina bisaanyizo bimatiza kkooti.

Omulamuzi yategezezza nga bw’awulirizza enjuyi zombi omusango n’agwongerayo okutuusa nga January 28, 2026 asobole okusooka okuyita mu buli omu ky’ayogedde bw’atyo Bireete n’amuzzaayo e Luzira.

Bireete omusango ogumuvuunanibwa gwakusaasaanya ebikwata ku kakiiko k'ebyokulonda mu bumenyi bw’amateeka nga tafunye lukusa okuva mu kitongole ekyo.

Tags:
Kkooti
Miasango
Misango
Kakiiko\
Kulonda