Amawulire

Abagambibwa okwekalakaasa mu kiseera ky'okulangirira akalulu basindikiddwa mu kkomera

ABANTU abasoba mu 100 ng'okusingira ddala bavubuka basindikiddwa mu kkomera ku bigambibwa nti beenyigira mu kwekalakaasa oluvannyuma lw’okulonda.

Abagambibwa okwekalakaasa mu kiseera ky'okulangirira akalulu basindikiddwa mu kkomera
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

ABANTU abasoba mu 100 ng'okusingira ddala bavubuka basindikiddwa mu kkomera ku bigambibwa nti beenyigira mu kwekalakaasa oluvannyuma lw’okulonda.

 

Bano baaleeteddwa kuva ku poliisi e Katwe ne basimbibwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Makindye.

 

Abawawaabirwa kuliko Fred Kalyango,Ivan Kiggundu, James Mukiibi,Bruce Mwesigwa,Ponsiano Ngondwe,Edgar Muntu,Ashraf Ssegane,Julius Bukenya,Micky Mutyobola, Edwin Musimenta ne Madina Kisaasi.

 

Mu balala mulimu Musa Mubiru, Faisal Shafik,Micheal Lubwama,Musa Kabogere, Godfrey Katongole, Sam Kiyemba, Twaha Ssekimpi, Nyombi,Abel Mawejje, Alex Ssemakula,Elvis Zebron ,Mark Mulunba,Joshua Kayiwa,Mujaasi David n'abalala.

Bano baakwatibwa nga January 16 ate abalala nga 17, 2026 mu bitundu by’e Kibuye ne Salaama Road nga bazibye oluguudo ssaako okwokya ebipiira.

Abalala baagambibwa okusangibwa e ggangu ku luguudo lw’e Busabala nga basazeeko oluguudo bookya bipiira mu ngeri etaataaganya ebyentambula n’abakozesa oluguudo abalala.

Omulamuzi David Magala abasomedde emisango era bonna ne bagyegaana n’abasindika mu kkomera.

Omuwaabi wa gavunenti ategeezezza nti okunoonyereza kuwedde na bwe kityo kkooti n’ebawa olwa February 10, 2026 okuwulira obujulizi.

Tags:
Kulonda
Kugambibwa
Kwekalakaasa
Kkomera
Kusindika