OMUVUBUKA Derrick Settuba akwatiddwa poliisi y'e Kabalagala mu Kampala , ku bigambibwa nti aliko gwe yafera ensimbi obukadde Munaana.
Kidiridde oluvuuvuumo olubadde luyitingana , ng'abantube ne mikwano gye, bategeeza nga bwe yawambiddwa mu ngeri etannamanyika era nga babadde bamunoonya.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, ategeezezza nti ono, yaloopeddwa Namara Omuhereza okumuggyako ssente mu lukujjukujju era nga waliwo n'abalala babiri nabo abaavuddeyo nga bamulumiriza bw'abadde yakakwatibwa.
Oweyesigyire, agambye nti fayiro yakuwerezebwa ew'omuwaabi wa gavumenti okwongera okubawa amagezi.