Amawulire

Ab'e Wakiso bakaayanidde obubonero mu kusunsulwa okukoleddwa leero

OKUSUNSULA abaagala ebifo by’ababaka e Wakiso kwazzeemu omukoosi oluvannyuma lw’abamu ku baagala okwesimbawo ku kifo kya Kyadondo East okukaayanira akabonero nga buli omu agamba ke yateekayo ng’atutte empapula ze ku ofiisi z’akakiiko.

Ab'e Wakiso bakaayanidde obubonero mu kusunsulwa okukoleddwa leero
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision

OKUSUNSULA abaagala ebifo by’ababaka e Wakiso kwazzeemu omukoosi oluvannyuma lw’abamu ku baagala okwesimbawo ku kifo kya Kyadondo East okukaayanira akabonero nga buli omu agamba ke yateekayo ng’atutte empapula ze ku ofiisi z’akakiiko.

Hajji Kiyimba ng'awayaamu ne ssentebe wa Wakiso aliko, Matia Lwanga Bwanika

Hajji Kiyimba ng'awayaamu ne ssentebe wa Wakiso aliko, Matia Lwanga Bwanika

William Magezi ne Khalid Ssimbwa baabadde bakaayanira akabonero k’omupiira kyokka nga ne Tom Muwonge k’akozesezza ekyaleetedde akulira eby’okulonda e Wakiso okusaba bano bakozese obubonero obulala.

Tom Muwonge oluvannyuma yasunsuddwa ku kabonero k’omupiira ate nga Ssimbwa yatutte ka nnyumba ate Magezi n’alonda akabonero ka leediyo.

Abalala abaasunsuddwa kuliko Hajji Abdul Kiyimba owa NRM, ng’ono ayagala kukiikirira Busiro East mu Paalamenti.

Ssentebe wa disitulikiti, Matia Lwanga Bwanika yasunsuddwa ku bwannamunigina okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Busiro South mu Palamenti oluvannyuma lw’okummibwa kkaadi ya NUP.

Muwada Nkunyigi naye yasunsuddwa.

Muwada Nkunyigi naye yasunsuddwa.

Ronald Ssemaganda owa NUP yasunsuddwa okuvuganya kukifo kya Busiro North ekibaddemu Paul Nsubuga ng’ono yammiddwa kkaadi.

Christopher Talemwa owa NRM yasunsuddwa okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kyadondo East ssaako Muwada Nkunyingi nga naye yasunsuddwa okuvuganya ku kifo kye kimu ku kkaadi ya NUP.

Tags:
Amawulire
Peter Ssaava
Kyaddondo East
Kwesimbawo
Mpapula
Kulonda