ABAKULEMBEZE mu disitulikiti y’e Soroti mu Teso balaajanidde Pulezidenti Museveni okutuukiriza bye yabasuubiza mu 2011, abazimbire ettendekero
ly’ebyemikono n’essomero lya siniya.
Bano bagamba nti ekitundu kya Teso nga kikulembeddwaamu disitulikiti y’e Soroti
okumala ebbanga, be babadde bakulembera mu kuwagira Museveni nga bamuyiira akalulu ebitundu 90 ku 100 naye tatuukirizanga bye yabasuubiza mu kampeyini za 2011.
“Tukutuma otugambire ku Pulezidenti nti bye yatusuubiza omuli; okutuzimbira ettendekero, essomero lya siniya n’ekitebe ky’ekibiina kya NRM mu Soroti kye kiseera abituukirize kuba abawagizi be bandinyiiga ne batamuwa kalulu mu 2026,” Omu ku bakulembeze bwe yagambye.
Baabadde mu lukung’aana, Hajjat Namyalo lwe yakubye ku kisaawe ky’eggombolola ya
Katine mu ssaza ly’e Dakabela mu Soroti nga lwetabiddwaamu abatuuze abasoba mu 9,000 wiikendi ewedde. Abatuuze ano baabawadde n’ebintu ebinabaggya mu bwavu.
Ssentebe wa NRM mu ggombolola y’e Katine, Joseph chiku yeemulugunyizza engeri
Gavumenti gye yabeerabiramu mu nsonga ezimu nga n’abamu ku balina kye baakolera NRM tebafunanga kasiimo.
Namyalo wamu n’abagenda okuvuganyiza ku kaadi ya NRM; Harriet Anyimo yamutaddemu obukadde 75 ate Peter Edeku Edopu yataddemu obukadde 12 n’emitwalo 40. Namyalo yawadde ab’e Soroti obuuma obukuba bbulooka, obusiika cipusi, ddulaaya, fulampeni, ssigiri ezisiika capati, ebbomba ezifuuyira, enkumbi, byalaani, ensigo ne kalonda omulala.
Yasabye abaafunye ebikozesebwa okulaba nga balwanyisa bwavu kibayambe obuteenyigira mu buzzi bwa misango.
“Ab’e Soroti ensonga ze mwemulugunyirizza Pulezidenti nziwulidde era ng’enda kuzimutuusaako. saba mumulonde mu 2026 kuba buli kye yabasuubiza ajja kukituukkiriza,” Namyalo bwe yategeezezza