Ab'e Ngogwe balaajanye ku ddwaaliro lya Gav't eritalina bikozesebwa: Eddagala terimala

Abavunaanyizibwa ku ddwaliro lya gavumenti erya Ngogwe Health Centre IV balaajanidde gavumenti ku nsonga y’eddagala eribaweebwa lye bagambye nti ttono nnyo terimala okusinziira ku muwendo gw’abalwadde gwe bafuna buli lunaku.

Ab'e Ngogwe balaajanye ku ddwaaliro lya Gav't eritalina bikozesebwa: Eddagala terimala
By Joanita Nakatte
Journalists @New Vision

Abavunaanyizibwa ku ddwaliro lya gavumenti erya Ngogwe Health Centre IV balaajanidde gavumenti ku nsonga y’eddagala eribaweebwa lye bagambye nti ttono nnyo terimala okusinziira ku muwendo gw’abalwadde gwe bafuna buli lunaku.

Akulira eddwaliro lino Oliver Naikoba, ategeezezza nga bwe baasuubizibwa embeera okulongooka oluvannyuma lw’eddwaliro lino okusuumuusibwa okuliggya ku ddaala ery’okusatu  ne lidda ku ddaala ery’okuna kyokka ekyennaku, empeereza baasigala ku ya ddaala lyakubiri ekintu ekizzizza eby’obulamu by’ekitundu kino emabega.

Asinzidde ku ddwaliro lino mu nteekateeka ya bannalotale bwe babadde bawa abatuuze b’e Ngogwe mu disitulikiti y’e Buikwe obujjajanbi obw’obwereere n’ategeeza nga bwe waliwo obwetaavu obw’amaanyi okukulaakulanya eddwaliro lino lituukane n’omutindo ogusaanidde olwo nabo ng’abasawo banguyirwe omulimu gwabwe nga baweebwa eddagala erimala n’ebyuma eby’omulembe ebikozesebwa mu kukebera endwadde n’okulongoosa.

Naikoba Ng'anyonyola.

Naikoba Ng'anyonyola.

Naikoba ayagala gavumenti ebawe ambyulensi eyambeko okwongerayo abalwadde naddala abakyala ababeera balemereddwa okuzaala, okubongera ebitanda, okubawa ebikozesebwa by’abakyala ababeera bagenda okuzaala, okuzimbira abasawo ennyumba n’ebirala bingi.

Bbo abamu ku bafunye obujjanjabi abaakulembeddwa Josephine Nalwadda Mayanja nabo  bakkaatirizza ku nsonga y’eddagala ettono ate eliri ennyo ku buseere mu malwaliro ag’obwannanyini, ekiviriddeko banaabwe bangi nnyo okufa olw’obutaba na nsimbi za kugula ddagala lino era ne basiima nyo obujjanjabi n’eddala eryabawererddwa ku bwereere.

Omu Ku Ba Nalotale Bw'abadde Ng'agema Omwana Polio.

Omu Ku Ba Nalotale Bw'abadde Ng'agema Omwana Polio.

Stellah Grace Namisango pulezidenti wa bannalotale b’e Seeta yannyonnyodde nti ekimu ku byabasikirizza okukuba olusiisira lw’eby’obulamu e Ngogwe kwe kumanya okusomoozebwa amalwaliro ag’omu byalo kwegasanga n’endwadde ezikyasinze okutawaanya ababeera mu bitundu ebyo, bayambibweko okubatuusiza eddoboozi eri be kikwatako okulaba nga bayambibwa.

Mu zimu ku ndwadde ezajjanjabiddwa mwe muli omusujja gw’ensiri, okulongoosa aniya, okugema abaana pooliyo, okukebera puleesa ne sukaali n’endwadde endala nnyingi.