ABATUZE mu ggombolola y’e Makokoto mu disitulikiti y’e Kassanda basagambiza olwa gavumenti okubawa essomero lya Siniya eryomulembe, nga lyerisookedde ddala mu kitundu kino. Makokoto Seed SS liwemmense Obuwumbi bw’ensimbi nga liriko ebibiina ebyomulembe, ebifo awasomesebwa kompyuta n’ebya ssaayansi.
Ebisaawe, kaabuyonjo n’ennyumba z’abasomesa. Bwe yabadde alambuza abatuuze essomero lino, Ssentebe wa disitulikiti y’e Kassanda, Kasirye Zimula yabakuutidde okukozesa obulungi essomero nga batwalayo abaana basome. Abatuuze nga bakulembeddwamu Ssentebe w’eggombolola eno, Eri Atulinda basiimye gavumenti olw’okubawa essomero ne basuubiza okutwalayo abaana basome.