AMAWANGA ga Bulaaya gongedde okwegatta okulemesa Trump okugatta ekizinga kya Greenland ku America.
Amawanga ag’enjawulo mu Bulaaya, bwe gaamaze okusindika amagye gaago ku kizinga ekyo nga gakulembeddwa Germany ne Bungereza, bannansi b’amawanga ago bangi beekalakaasirizza mu bibuga eby’enjawulo nga baggumiza nti, ekizinga ekyo kya bannansi baakyo.
Amawanga ga Bulaaya ge gamu gaagumidde emisolo egy’ebitundu 10 ku 100, Pulezidenti wa America, Donald Trump gye yabongezza ku egyo ebitundu 15 ku 100 gye babadde bawa ku buli kintu kye batunda mu America.
Amawanga agasinga okumuwakanya ku ky’okugatta Greenland ku America okuli; Denmark, Norway, Sweden, France, Germany, Bungereza, Budaaki ne Finland ge gamu ku galina okusasula emisolo egyo.
Trump ate yayongedde okunyiiga n’okugatiisatiisa bwe gaayiyeeyo amagye n’alabula bw’agenda okusiba nnatti ku mawanga ago.
Eky’emisolo ne nnatti z’atannalangirira, okusinziira ku mawulire ga ABC news, Trump ebibonerezo ebyo ajja kubiggyawo ng’okwezza Greenland kuwedde.
Ekitaategeerekese bwe kutaggwe binaggwa bitya?
Amawanga ga Bulaaya ge gamu, bwe gaamaze okwongera akazito ku by’okulemesa Trump ekizinga nga gakunga bannansi abeekalakaasirizza mu butiti nga balaga bwe kitali kituufu kugula oba okuwamba oba okukaka bannansi b’ekizinga ekyo okwegatta ku America, gongeddewo embeera bwe gategese olukiiko olw’amangu okuteesa ekiddako.
Amawanga ga Bulaaya 27 ge gategese olukiiko wiiki eno ng’abakulembeze baago bagenda kusala entotto ku kiddako ku by’okulemesa America.
Pulezidenti w’akakiiko akagatta amawanga ago mu mukago gwa European Union akayitibwa European council, Antonio Costa ye yayise olukiiko olwo. Oyo era ye Katikkiro wa Portugal.
Greenland kizinga kya Bwakabaka bwa Denmark esangibwa mu Bulaaya.