ABAZIGU baasoose kuyingira mu bbaala munda ne befuula abaagala ebisulo era ne batuula mu kifo webagabulira eby’okulya.
Bano tebaasose kutegererawo nti bazigu ba mmundu.
Baabadde ku bbaala ya HABB e Gombe- Kayunga mu Wakiso era nga baatuuse ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ne basaba eby’okunywa n’ebyokulya wakati mu kulekanira waggulu.
Olw’okuba ekifo kyabadde kikunganyizza abadigize abalala nga banywa mwenge, kyawadde abazigu bano ekyanya okubaza emmundu ya askari era kyabatwalidde essaawa 6.
Okusinziira kumukozi ku woteeri eno eyategerekeseeko erya Lydia, omu ku bazigu Ashraf Mubiru (eyakwatiddwa) yafuluye ebbaala ng’akutte ebijaketi bibiri ne fulasika ya chai.
Mbu ono yamugoberedde nga bwamubuuza gyabitwala wabula n'atamunyega, ekyaddiridde abavubuka abalala nebamugoberera nga boolekera geeti wabweru.
Mbe 3(2)
Kyokka bwebaatuuse ku geeti, baasanzeewo omukuumi ne batandika okumusaba emmundu era bweyaganye ne batandika okumulwanyisa. Omukuumi eyategerekese nga Samson Namonyo yakutte batuuni n'atandika okuzikubisa abamu ku bavubuka bano era ebbiri nezibamenyekerako.
Wakati mukulwanagana okw’amaanyi abavubuka babiri baakutte emmundu kumumwa ewafulumira amasasi ne batandika wabula n’omukuumi naginyweza ekyaddiridde mmundu kumyenyekamu bupapajjo.
Kigambibwa nti bano olwamaze okulaba nga bamenye emmundu, nebabuuka okuyita waggulu ku ggeeti badduke wabula omu omukuumi w’ekifo namukwata era namutekako empingu.
Kyokka abakulira ekifo kino wadde baakubidde abaserikale ku poliisi e Wakiso okubategeeza ekiguddewo, mbu akulira ebikwekweto ku poliisi eno yabategezezza nga bwebatalina ntambula ebatuusa kukifo nti ate balwadde nebabasaba okutwala omusango ku poliisi.
Enjega eyabaddewo ku ssaawa 10:00 ez’ekiro, poliisi yatuuse mukifo ku ssaawa 3:00 ez’okumakya ate ekintu ekyanyizizza ennyo abatuuze nebebuuza gyebeera mukifo ky’okulawuna.
Mbe 7(1)
Akulira eby’okwerinda ku kyalo Gombe-Kayunga Patrick Ssekatawa yagambye nti omuvubuka eyakwatiddwa abadde atera kumulaba kukyalo ng’ayinayina wabula nga tamanyi kifo ki wasula.
“Gwebaakutte yayogedde ekibinja kyebakolagana nakyo era nategeeza nti balina eyabatuma okukola misoni nga mukifo kino baa bade bagala kutwala mmundu yaawo.” Ssekatawa bweyayongeddeko