PULEZIDENTI Museveni olwa leero lwayingira distulikitti y'e Luweero okutandika okunoonya akalulu .
Banna luweero bali mukwejaga nga balindirira omukulembeze w'eggwanga era amakubo gonna agayingira distulikitti eno gatimbidwa ebiyitirirwa ebiri mu langi ya kyenvu .
AbawagizI ba NRM nga beejaga
Abawagizi ba Gen.Museveni bakwatiride ku makubo nga bwebawaga omuli okufuwa zi vuvuzela , okuzina amazina , okuyisa ebivulu za bodaboda nebirala bingi nga bwebasusuta erinnya lye .
Ku kisaawe Kya Bukalasa pulezidenti Museveni wagenda okwogerera eri abawagizi be era bakunganye dda mubungi nga bamulindirira era mukiseera kino abayimbi okuli Bebe Cool bali mukubasanyusa.