Amawulire

Ekitongole ky'ebyobulambuzi kituuzizza olukung'aana okukubaganya ebirowoozo ku mpeereza yaabwe

EKITONGOLE kye by'obulambuzi kituuzizza olukung'aana olugendereddwamu okukuba empawa ku biki ebituukidwaako omwaka 2024-2025 mu nsiike ye byobulambuzi  era ssaako n'engeri gyebayinza okutuukiriza ebyagaana.  

Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja ng'ali wamu na'abakungu abalala
By: Godfrey Ssempijja, Journalists @New Vision

EKITONGOLE kye by'obulambuzi kituuzizza olukung'aana olugenddwamu okukuba empawa ku biki ebituukidwaako omwaka 2024-2025 mu nsiike ye byobulambuzi  era ssaako n'engeri gyebayinza okutuukiriza ebyagaana.,

 Olukungaana luno lutuumibwa 3RD Annual  Tourism Development Review Conference olutuude  ku Hotel Africana nga omugenyi omukulu abadde Katikkiro wa Ugamda Robinah Nabbanja ssaako n'abakungu abalala  okuva mu  bitongole byobulambuzi okuli  UTB Juliana Kagwa, Minister we byobulambuzi Hon Tom Butime  n'ababaka ba Palamenti abalala.

Tom Butime Minister we byobulambuzi agambye nti Gavumenti ekoze ebintu bingi okukakasa nti ebyobulambuzi bikula nga ku bino kuliko okuzimba ekisaawe kye nnyonyo e Hoima , okuzimba enguudo , okutwala abasaabaze okutuuka e USA nga bakozesa enyonyi ye gwange , okugaziya ekisawe kye nnyonyi e Ntebe ne birala .

Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja ng'ali n'abakungu okuva mu minisitule y'ebyobulambuzi

Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja ng'ali n'abakungu okuva mu minisitule y'ebyobulambuzi

Ono agenze mu maaso n'agamba nti bongedde okufuna omuwendo gwe byobulambuzi omunene ate nga bano abasinga balambula okumala ebbanga, n'ensasaanya yabalambuzi eyongedde okukula ekitegeeza nti abantu abali mu byobulambuzi bafunye sente .

Ye Katikikiro  wa Uganda Robinah Nabanja abadde omugenyi omukulu agambye nti ekitongole kye by'obulambuzi kikoze bulungi nnyo era nti omwaka wegunaggwerako kigenda kuba nga kyongedde okukola obulungi , ayongedeko nti olukungana luno lutuukidde mu kiseera kituufu nnyo.

Ono agambye nti Gavumenti eyagala okukakasa nti ebyobulambuzi byongera okukola era kino kyakubaawo nga bongera okuzimba enguudo ennungi , okukulakulanya ebifo ebirina eby'obulambuzi ebirungi kwosa n'okufuna abakozi abatuufu ate nga bakugu nnyo okuwereza abalambuzi .

Asembyeyo nga yeeyama okwongera okuwagira enteekateeka ze byo bulambuzi era nga kino kyakolebwa nga bongera okussaamu ensimbi  .

Dr James Musinguzi akulira UWA agambye nti ebyobulambuzi byebimu ku byongedde okuyamba okuleeta ensimbi mu ggwanga era nti bakwongera okutereza ensobi entono okuli okutta ensolo , okuliyirira omuntu abafiridwa ebintu okuli ebisolo nebirime   nensonga endala ..

Akulira UTB Juliana Kagwa agambye nti batandise enteekateeka ya Explore nga eno ekigendererwa kyakuletera bantu kulambula Uganda ebbanga eddene kubanga ebyobulambuzi bingi nnyo n'olwekyo balina obuvunanyizibwa okumanyisa abalambuzi ebifo byobulambuzi bino . 

Ono akubiriza abantu okwetanira emikolo gyobulambuzi okuli okutuuma enkula , okujaguza olunaku lwa mazike kwosa n'olunaku lwe byobulambuzi munsi yonna .

Tags: