Abatemu bayingiridde omutuuze ne bamutta ne baleka nga basibye emiguwa abalala mu nyumba ne banyaga ensawo z'emmwanyi 50
Ettemu, libadde ku kyalo Kikenene mu Ggombolola y'e Kisekka e Lwengo, abazigu nga Bataano bwe basse nnyini maka era omusuubuzi owamaanyi George William Bifaaki 53.
Kigambibwa nti abatemu, baazinze amaka gano ne basiba omukyala n'abakozi b'awaka emiguwa ate ye omusajja ne bamuttira mu garagi ne bakuuliita n'ensawo z'emmwaanyi.
Kigambibwa nti omukyala asobodde okwesumulula n'akuba enduulu kyokka ng'abatemu bagenze.
Omwogezi wa poliisi mu Masaka, Twaha Kasirye, ategeezezza nti batutte embwa enkonzi y'olusu naye, tewali kyezudde. Agasseeko nti okunoonyereza kugenda mu maaso okuzuula abatemu bano.