Ebibiina ebiddukanya amasomero ga senior ne Primary bikkaanyizza okukola ekibiina kimu

EBIBIINA ebiddukanya emizannyo gy’amassomero ga siniya ne primary ebya USSSA ne UPSSA bikkaanyizza okukola ekibiina kimu okusobola okutuukiriza ebyetaago bye kibiina ekiddukanya emizannyo gy'amassoemro mu nsi yonna.

Abakulira amasomero ga senior ne Primary nga beegeyaamu
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

EBIBIINA ebiddukanya emizannyo gy’amassomero ga siniya ne primary ebya USSSA ne UPSSA bikkaanyizza okukola ekibiina kimu okusobola okutuukiriza ebyetaago bye kibiina ekiddukanya emizannyo gy'amassoemro mu nsi yonna.

Enzikiriziganya eno yatuukiddwako mu lusirika lwabakulembeze b'ebibiina bino byombi olw'amaze ennaku ebbiri nga lutojjera Entebbe era nga gyebanyukidde nga bakkaanyizza okukola ekibiina kimu kyebayise uganda schools’ sports federation ekinaabalungamyanga mu mizannyo egiri ku mutendera gwensi yonna.

Abakulira emizannyo gya Senior ne Primary

Abakulira emizannyo gya Senior ne Primary

Olusirika lwakubirizibwa commissioner w'ebyenjigiriza mu ministry y'ebyenjigiriza nebyemizannyo Rev. Can. Duncans Mugumya eyabafalaasidde ebirungi ebiri mu kukolera awamu. “ bwetugenda wabweru weggwanga, ebyemizannyo mu mizannyo tebyawulwamu primary na siniya, ekyokubyawula kibadde kitukugira okutwala abavubuka abatuufu abalina okwetaba mu mizannyo gyensi yonna”. Mugumya yayongeddeko nti omukago guno gwakumalawo nobumulumulu obubadde mu mizannyo egimu omuli okubba emyaka, okuzanyisa abacubamu mizannyo gyamassomero nokulondoola bannabyamizannyo okuva ku mitendera egya wansi.

President w'ekibiina ekiddukanya emizannyo gya siniya Justus Mugisha atenderezza omukago ogukoleddwa nga ogugenda okubayamba okuzuula nokutumbuula ebitone ku mitendera gyonna. “tujja kwanguyirwa nnyo mu kuwangana amagezi, okubangula abalamuzi bemizannyo nokweteekateeka obulungi nga tukiise mu mizannyo gyensi yonna.

Abkulira emizannyo gya Senior ne Primary nga beegeyaamu

Abkulira emizannyo gya Senior ne Primary nga beegeyaamu

Ye akulira ekibiina ekiddukanya emizannyo gyamassomero ga primary William Bwambale ayanirizza enteekateeka gyebatuseko gyogeddeko nga eyokubawa obuyinza ekyenkanyi. “USSSA ebadde etuli mu maaso kumpi mu buli kimu naye omukago guno gugenda kutuyamba okutambulira awamu nokugabanya obuvunaanyizibwa kyenkanyi”. Ebibiina byombi byakusigala nga biddukanya emirimu gyabyo wabula nga buli kibiina kigenda kuleeta abakungu bataano abagenda okwerondamu president wa federation nomumyukawe.

Bano batandise kaweefube owokubaga ekiwandiiko kya ssemateeka kiyite constitution gyebagenda okukoleramu nga eno yaakusooka kwekenenyezebwa ekitongole kyebyemizannyo mu ministry yebyenjigiriza nga tennayisibwa.