Ababbooda bategekedde Pulezidenti Museveni amazaalibwa Kololo n'eyuuguuma

Ebuggumu lyeyongedde mu kivvulu abavuzi ba bodaboda bonna okwetooloola eggwanga kye baategekedde Pulezidenti Museveni ng’ajaguza okuweza emyaka 81 egy’obuto.

Ababbooda bategekedde Pulezidenti Museveni amazaalibwa Kololo n'eyuuguuma
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision
#Amawulire #Joseph #Mutebi #Mawulire

Ebuggumu lyeyongedde mu kivvulu abavuzi ba bodaboda bonna okwetooloola eggwanga kye baategekedde Pulezidenti Museveni ng’ajaguza okuweza emyaka 81 egy’obuto.

Mu kivvulu kye baatumye 'bodaboda Union Festival and Expo'  ku kisaawe e Kololo.

Pulezidenti bwe yabadde yaakatuuka ku kisaawe e Kololo

Pulezidenti bwe yabadde yaakatuuka ku kisaawe e Kololo

Ekivvulu kino kyetabiddwaako bannakampala bonna omuli ababbooda, abasaabalira ku bbooda, abatttakisi, akeedi, ab’obutale ne bannabyabufuzi abawagira NRM okwebaza omutonzi okukuuma Pulezidenti waffe.

Minisita w'abavubuka n'abaana  Balaam Barugahara y'omu ku babadde bakalabaalaaa b'omukolo guno era bakira wasooseewo amazina aga buli kika ng’abavubuka batuuka okulaga ebitone n’eddembe lye bafunye mu bufuzi bwa Museveni.

Sipiika Among n'omumyuka we baabaddeyo mu maanyi ku kisaawe e Kololo.

Sipiika Among n'omumyuka we baabaddeyo mu maanyi ku kisaawe e Kololo.

 Bakira buli awangula omutendera ogutegekeddwa nga Balaam amuwa emitwalo 10

Ku siteegi bataddeko ekibumbe kya M7 ng'ayambadde essaati enjeru n’enkoofiira era buli akirabako atendereza Katonda waliwo omwesigwa okubakuumira omuntu waabwe.

Bannaddiini nabo baabaddeyo.

Bannaddiini nabo baabaddeyo.