Abazadde abatakkiririza mu Katonda temumalira baana budde-mubalinde nga bamaze ebibuuzo.
Abazadde abatakkiririza mu Katonda baweereddwa amagezi obutamalirira baana baabwe budde bagenda kukola bibuuzo nga babasingira ebintu ebitaliimu ebya sitaani mbu bibayambe okuyita ebigezo.
Fr. Simon Peter Kabenge okuva mu kigo ky’e Mwereere ekisangibwa mu ssaza lya Klezia ekkulu ery’e Kampala y’ategeezezza nti abazadde mu kiseera kino basuubirwa okusibirira abaana baabwe entanda omuli okubawa buli kyetaago kye beetaaga gamba ng’okubasasulira ebisale by’essomero biggweyo, okubawa ebikozesebwa mu kusoma ng’emikebe (set), ppeeni n’ekkalaamu, luula n’ebirala ssaako okubasabira babakwase Katonda.
“Eby’embi, ate eriyo abazadde mu kiseera kino abayinza okuleetera abaana baabwe obuti n’eby’awongo ebirala ne babasaba beekwase ba jjajja baabwe bbo be bakkiririzaamu, ekyo kibi nnyo era kya bulabe mu kaseera kano aka kazigizzigi, kuba ebyo biba bigenda kuwugula omwana abadde asoma akasembayo abiveeko ng’alowooza ebyo ebyawongo bye bamuwadde bijja kumuyamba okuyita mu kaseera kano ekitali kituufu. Sso nga ffe bwe tubakwasa Katonda n’okubasabira, tubakubiriza n’okusigala nga basoma nnyo ebitabo okutuusa ng’ebigezo biwedde,” Fr. Kabenge bw’annyonnyodde.
Bino Ffaaza abyogeredde Mukono mu Nakifuma-Naggalama ttawuni kkanso ku ssomero lya Naggalama Junior School ng’asabira abayizi abalindiridde okutuula ebigezo bya UNEB ebya P.7 ebya PLE nga November 8 ne 9.
Fr. Simon Peter Kabenge ng'annyonnyola
Ono era alabudde abazadde abafuna akadde okukyalira ku bayizi baabwe ku masomero gye basomera n’abo abaviira ewaka okwewala okuboogerera ebigambo ebibamalamu amaanyi wabula babazzeemu buzza maanyi.
“Tekigasa kulangira mwana bussiru bwa kitaawe, n’omutegeeza nti teweewuunya kuba ne kitaawe oba nnyina yasembanga mu kibiina, mu kiseera kino! Nedda ekyo abazadde tetukikola,” Fr. Kabenge bwe yabawabudde.
Ono agumizza abayizi nti ssinga baneekwata Katonda ne basigala nga basoma ebitabo byabwe okutuusa lwe banaamala ekibuuzo kyabwe ekisembayo, baakuyita ebibuuzo bino nabo beewuunye.
Fr. Kabenge era alabudde abazadde abettanira enkola ya kizaalaggumba mu nteekateeka y’ekizungu omuli abamira empeke n’okwekubisa empiso n’agamba nti bino birina obulabe bingi nnyo eri obulamu bwabwe n’okusinga abaana be baba beetangira okuzaala.
“Klezia tekkiriza nkola ezo, n’olw’ekyo nze mbalagira kugenda kuzaala ensi eyala bantu. Mmwe abettanira enkola ezo, muli mu byammwe mikimanye nti yo klezia tebikkiriza,” bwe yategeezezza.
Ku lw’abazadde, Godfrey Ssekajja yalaze okunyolwa olw’amasomero agamma abayizi ebibuuzo nga bwe gwabadde mu masomero agamu ku ntandikwa y’ebibuuzo bya UNEB ebya S.4 n’agamba nti omuzadde aba alina okukwatagana n’essomero ssente bwe ziba zigaanye n’asobola okukola ebigezo ne bazisasula mpola ng’ebibuuzo we birikomerawo nga bamazeeyo ezibabangibwa.
Omutandisi w’essomero lino, munnabyanjigiriza Lawrence Lugoloobi akataatidde abayizi okusigala nga ba mpisa ebbanga lye basigazza okutandika ebigezo ne bwe banaaba babimaze ate ne bwe banaaba mu vvaaka n’agamba nti balina okwekuuma nga bawulize eri bazadde baabwe baleme kugwa mu kabi akaviirako n’abamu okugwa mu ntata kumpi kutuuka na kufiirwa bulamu.
Abayizi ba P.7 abazze banywa mu bannaabwe akendo mu bintu eby’enjawulo omuli mu kusoma, empisa, obuyonjo, obukulembeze n’ebirala baweereddwa ebirabo omuli ebbaluwa ezibasiima n’ebirala