Abawagizi ba Kyagulanyi bakoze olutalo ku poliisi eggadde oluguudo oluva e Mityana e Mubende ku mu lukungaana lwe olw'okubiri.
Hajjati ng'aggyeemu engatto ataddeko kakokola tondeka nnyuma.
Bino bibadde ku mugga Katabalonga mu disitulikiti y'e Mubende.
Embeera eno ewalirizza Kyagulanyi okuva mu mmotoka ye n'ayita mu baserikale wakati n'abakuumi be ng'ono yeegattiddwako abawagizi be.
Abamu ku bawagizi nga basalinkiriza mu kasooli okunoonya ekkubo we bayita.