Amawulire

Eyakubye omwana eyeegabidde enva nga tebazimuwadde n'amutuusaako obuvune poliisi emukutte

OMWANA ow'emyaka 5 agambibwa okwegabira enva z'ennyama nga tebazimuwadde, aweereddwa ekitanda oluvannyuma lw'okumutuusaako ebisago eby'amaanyi.

Eyakubye omwana eyeegabidde enva nga tebazimuwadde n'amutuusaako obuvune poliisi emukutte
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

OMWANA ow'emyaka 5 agambibwa okwegabira enva z'ennyama nga tebazimuwadde, aweereddwa ekitanda oluvannyuma lw'okumutuusaako ebisago eby'amaanyi.

Bino, bibadde ku kyalo Kiduula mu Ggombolola y'e Kamira e Luweero, omu ku b’abeera nabo awaka, bw'amutuusizzaako ebisago eby’amaanyi ng'amulanga okubba enva.

Omwana ono Yasin Trevor, asomera ku ssomero lya Kiduula P/S  nga mu kiseera kino, ali mu kufuna bujjanjabi , oluvannyuma lw'okumukuba ennyo n'okumutulugunya n'azimbagatana n'okufuna ebiwundu eby'amaanyi.

Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima, ategeezezza nti eyatuusizza ebisago ku mwana ono, bamukutte ng'okubuuliriza kukolebwa era n'avumirira ekikolwa kino.

Tags:
Amawulire
Mwana
Kugaba
Nva
Kukuba