KANAABE akaligiddwa mu nkomyo lwa kubba ssente mu motoka gye baali bamuwadde okwoza.
Vicent Mugabi 28, omutuuze w’e Makindye Luwafu mu munisipaali y’e Makindye mu disitulikiti y’e Kampala ono nga akola gwa okwoza mmotoka ye yasingisiddwa omusango gw’okubba ensimbi ezibalirirwa mu bukadde 50 mu maaso g'omulamuzi Ronald Kayizzi n’amusindika mu nkomyo okumalayo emyezi 21.
Omulamuzi mu nsala ye yamulagidde okuzzaayo ensimbi ze yali akozesezzaako oluvannyuma lw’okukwatibwa wamu n’okuwayo ebintu ebikalu bye yali aguze mu ssente ezo okuli essimu ya Samsung wamu ne pawa bbanka.
Empaaba ya kkooti eraga nti Mugabi ng’akolera mu kifo we booleza emmotoka ekiyitibwa Red Basket okuliraana Spear Motors ku luguudo lwa Jinja road mu Kampala, yaweebwa omulimu gw’okwoza emmotoka ekika kya Land cruiser mwe yabba ssente nga zaali za Nasser Sserunjogi.
Mu ssente ezabbibwa kwaliko ddoola 3300 ate eza Euro 9000 nga kwotadde n’obukadde bubiri n’ekitundu eza Uganda wabula nga mu kukwatibwa yasangibwa ssente zonna azikyusizza okuzizza mu z’e Uganda.
Wabula mu ndagaano gye yakoze, yasabye kkooti okumubeerera ey’ekisa ng’esala omusango, n’akkiriza ensobi gye yakala.
Yasabye kkooti okumubeerera ey’ekisa okumusalira ku kibonerezo nti era akyali muvubuka alina oguvunaanyizibwa okukulaakulanya eggwanga.
Wano omulamuzi Kayizzi we yategeerezza nga bw’alina okukola ekibonerezo ekisaanidde kuba nti Sserunjogi obwesigwa bwe yali yamuteekamu bwali bungi okuba nga ye yali amwoleza engoye kyenkana emyaka 10 emabega.
Olw’okuba nti Mugabi we baamukwatira poliisi yasobola okununulako ssente ezimu era yategeezeddwa nti waakuliyiriya Sserunjogi ssente ezaali zisigaddeyo oluvannyuma lw’okukola ekibonerezo kye.